bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Philippians 1
Philippians 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Pawulo ne Timotewo, abaweereza ba Kristu Yezu. Ya batuukirivu bonna mu Kristu Yezu abali e Filippi, wamu n'abalabirizi n'abadyakoni.
2
Eneema ebeere nammwe, ko n'emirembe okuva ewa Katonda Kitaffe n'ew'Omukama Yezu Kristu.
3
Neebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira
4
bulijjo mu ssaala zange zonna nga mbasabira mwenna, ne nsaba nga nnina essanyu,
5
nga neebaza olw'okukwatira awamu omulimu gw'Evangili okuva olubereberye n'okutuusa kati.
6
Era neesigira ddala nti eyatandika mu mmwe omulimu omulungi, ajja kugutuusa ku kumalirizibwa ku lunaku lwa Kristu Yezu.
7
Kituufu nze mwenna okubateebeza ntyo, kubanga mundi ku mutima, kubanga mwagabana ku neema gye nafuna, ku busibe bwange ne ku kutaasa n'okukakasa Evangili.
8
Katonda anjulira nga bwe mbalumirwa omwoyo mwenna n'okwagala kwa Kristu Yezu.
9
Kino kye nsaba, nti okwagala kwammwe kweyongerenga bulijjo, ko n'okumanya n'okutegeera,
10
mulyoke mulondengawo ebisinga obulungi, era mubeere batukuvu abataliiko musango ku luli Kristu lw'alijja,
11
nga mujjudde ebibala nkumu eby'obutuukirivu ebiyita mu Yezu Kristu ku lw'ekitiibwa kya Katonda n'ettendo lye.
12
Nandyagadde mumanye, abooluganda, nti ebyo ebintuuseeko byongedde bwongezi Vangili kugenda mu maaso.
13
Era kati wonna mu Purayitoriyo n'awalala wonna, bategedde nti ndi mu nvuba lwa Kristu.
14
Ate abasinga obungi mu booluganda, nze olw'okubeera mu nvuba, beeyongedde bweyongezi kuguma, era kati bayigiriza n'obuvumu obusingawo ekigambo kya Katonda okusinga luli, nga tebaliimu kutya.
15
Abamu okuyigiriza batyo Kristu bakikoza buggya na kuluubirira; naye abalala bakikoza mutima mulungi.
16
Bano bakikoza kwagala, nga balaba ndi wano lwa kutaasa Vangili,
17
naye bali bayigiriza Kristu lwa kuluubirira, si na mutima mulambulukufu, wabula bagenderera kunnumya mu nvuba ze nnimu.
18
Ye ddala kiki? Mu buli ngeri, oba oli yeekoza bwekoza oba akolera ddala mu mazima, Kristu y'aba ayigirizibwa, ekyo kye nsanyukira.
19
Ddala nzija kwongera okusanyuka, kubanga mmanyi ng'olw'essaala zammwe n'okuyambibwa Mwoyo wa Yezu Kristu kino kijja kunviiramu obulokofu.
20
Kino kye nninda n'amaddu era kye nsuubira, nti sijja kuswala n'akatono, wabula nti ku mulundi guno Kristu anaagulumizibwa n'obuvumu bwonna mu mubiri gwange nga bulijjo, mu bulamu oba mu kufa.
21
Anti ku nze, obulamu ye Kristu, ate okufa gaba magoba.
22
Naye nno ate oba nze okusigala nga nkyali mulamu mu mubiri kiwa omulimu gwange okubaako kye gugasa, olwo simanyi kye nnondawo.
23
Nkwatiddwa ku njuyi zombi; neegomba nsomoke, mbeere ne Kristu, ekyo kye kisinga obulungi.
24
Naye ate okugira nga nkyali mulamu mu mubiri ku lwammwe kye kisinga okwetaagibwa.
25
Mmanyi era nkakasa nga nzija kugira nga nkyaliwo nammwe mwenna, musobole okweyongera era n'okwesiimira mu kukkiriza kwammwe,
26
mweyongere okwetendera mu Kristu Yezu ku lwange bwe ndikomawo gye muli omulundi omulala.
27
Kyokka muyise mu ngeri esaanidde Evangili ya Kristu, oba nga nzize ne mbalaba oba nga siri eyo, mbeere nga mpulira nga bwe muli abanywevu, ab'omwoyo ogumu n'emmeeme emu, nga muteganira wamu olw'okukkiriza kw'Evangili.
28
Ababalumba baleme kubatiisa n'akatono; obwo bukakafu obuva ewa Katonda nti abo bazikiridde ate nga mmwe mulokoddwa.
29
Mmwe mwaweebwa nti ku lwa Kristu muleme kukkiriza kyokka, naye n'okubonaabona muboneebone olw'okubeera ye.
30
Muli ku lutalo lwe lumu nange lwe mwandaba ndiko era lwe mukyampulirako.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4