bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Philippians 4
Philippians 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Kale nno, baganda bange abaagalwa, abannumya omwoyo, essanyu lyange, engule yange, munywerere mu Mukama, abaagalwa.
2
Neegayirira Ewodiya, neegayirira ne Suntuke, bakkaanye mu Mukama.
3
Nsaba naawe munnange omwesigwa bwe tukola omulimu, abakyala abo obayambe, kubanga twakolanga ffenna ku lw'Evangili wamu ne Kulementi ne bakozi bannaffe abalala amannya gaabwe agaawandiikibwa edda mu kitabo ky'obulamu.
4
Musanyuke mu Mukama bulijjo; nziramu okubagamba: musanyuke.
5
Abantu bonna balabe obuteefu bwammwe. Omukama ali kumpi.
6
Temubaako kye mweraliikirira n'akatono, naye mu buli kintu bye mwetaaga mubyanjulirenga Katonda nga mwegayirira awamu n'okwebaza.
7
Olwo eddembe lya Katonda erisukkiridde buli kutegeera, linaakuumanga emitima gyammwe n'emyoyo gyammwe mu Kristu Yezu.
8
Ekisembayo, abooluganda, buli kya mazima, buli kya kitiibwa, buli kituufu, buli kitukuvu, buli kyegombebwa, buli kyogerwako obulungi, oba waliyo empisa ennungi, oba ekiweesa ettendo, ebyo bye muba mulowoozaako.
9
Bye mwayiga ne mukwata, bye mwawulira ne bye mwalaba ku nze bye muba mukola, olwo Katonda ow'emirembe ajja kubeera nammwe.
10
Nasanyuka nnyo mu Mukama okulaba nga muzzeemu buto okunnumirwa; mubadde ggwe wamma munnumirwa, naye nga mukyabuliddwa akadde.
11
Obubulwa si bwe bunjogeza, kubanga nze nayiga okuba omumativu mu buli mbeera:
12
okudooba nkumanyi n'okuba n'ebingi nkumanyi; natendekebwa mu buli mbeera na mu buli kintu: okuba omukkufu n'okugenda enjala, okuba n'ebingi n'okuwamma.
13
Byonna nnyinza okubisobola mu oyo ampa amaanyi.
14
Ggwe wamma mwakola bulungi okuba nange mu nnaku zange.
15
Mmwe mwennyini ab'e Filippi, mumanyi nga bwe nali nva e Masedoniya, luli nga naakatandika okuyigiriza Evangili, mpaawo Ekleziya ndala n'emu bwe twakolagana ebeeko k'empa nange mbeeko ke nfuna, wabula mmwe mwekka.
16
Ne bwe nali e Tessalonika mwanziruukirira ogwasooka n'ogwokubiri.
17
Eky'okumpa si kye nnoonya; wabula nnoonya magoba ageeyongera ku bugagga bwammwe.
18
Leero nnina byonna, biyitiridde n'okuyitirira; nzijudde oluvannyuma lw'okufuna okuva ku Epafurodito ebintu bye mwampeereza; byali akawoowo ak'akaloosa, ekitambiro ekisanyusa Katonda.
19
Katonda wange alibajjuza na byonna bye mwetaaga ng'asinziira ku bugagga bw'ekitiibwa kye mu Kristu Yezu.
20
Katonda waffe era Taata agulumizibwe emirembe n'emirembe. Amiina.
21
Mundabire buli mutuukirivu mu Kristu Yezu. Abooluganda bwe tuli eno babatumidde.
22
Abatuukirivu bonna babatumidde, naddala eb'ennyumba ya Kayisari.
23
Eneema ya Mukama waffe Yezu Kristu ebeere n'omwoyo gwammwe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4