bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Philippians 2
Philippians 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Obanga mu Kristu mulimu ekiyinza okubagumya, ekibasindika okwagala, okussa ekimu mu Mwoyo, okwagalana n'okulumirwagana,
2
mujjuulirize essanyu lyange nga muba n'endowooza emu, n'okwagala kumu, emmeeme emu n'omutima gumu.
3
Mubuleko kye mukola nga kiva mu kwelowoozaako ne mu kwepanka; wabula mu bwetoowaze, buli omu atwale abalala nti be bamusinga.
4
Buli omu abeere nga tafa ku bibye yekka, wabula ne ku by'abalala.
5
Mu mmwe mubeere ba ndowooza ng'eyali mu Kristu Yezu:
6
Oyo newandibadde nga mu ndabika yali Katonda, eky'okuba ekyenkanyi ne Katonda teyakiremerako,
7
wabula yeemaliramu ddala, n'afaanana omuddu, n'afuuka ng'abantu bwe baba.
8
Ng'amaze okufaanana abantu, yeetoowaza, n'awulira okutuusa okufa, okufa nno ku musaalaba.
9
Ne Katonda kyeyava amusukkulumya, n'amuwa n'erinnya erikira amannya gonna,
10
awali erinnya lya Yezu byonna bifukamirenga, eby'omu ggulu, eby'omu nsi n'ebiri wansi w'ensi,
11
buli lulimi lwatulenga nti Yezu Kristu Mukama, Katonda Taata afune ekitiibwa.
12
Kale nno, bannange abaagalwa, nga bwe mubadde abawulize bulijjo, si nga ndi eyo kyokka, naye kaakano n'okusingawo nga siri eyo, mufaabiinire okulokoka kwammwe mu kutya n'okukankana.
13
Anti Katonda y'akola mu mmwe n'abawa okwagala n'okukola olw'ekyo kye yeeteesa mu kwagala kwe.
14
Byonna mubikolenga awatali kwemulugunya na kulonzalonza,
15
mubuleko kye babavunaana, nga temuliiko musango, muli baana ba Katonda abalungi, abataliiko bbala wakati mu bantu be mulimu, ezzadde ekkyamu eryonoonefu, mwe mwakaayakanira ng'ettawaaza mu nsi,
16
nga munyweza ekigambo ky'obulamu. Olwo ku lunaku lwa Kristu, ndiba ne kye neetenderamu nti embiro sadduka za bwereere, saakolera busa.
17
Ne bwe nnaaba mpeerezeddwayo ng'ekitone eky'okuyiwa ekigattiddwa ku kitambiro kyammwe n'ebitone eby'okukkiriza kwammwe, nandisanyuse ne njaganya nammwe mwenna.
18
Nammwe era mwandisanyuse ne mujaganya nange.
19
Nsuubira mu Mukama Yezu okusindika amangu Timotewo ajje eyo nziremu omwoyo nga ntegedde ebibafaako.
20
Anti sirina mulala wano asobola kulumirwa ddala bibakwatako ng'oyo.
21
Abalala bonna beenoonyeza byabwe, si ebyo ebya Yezu Kristu.
22
Naye ono mmumanyi bulungi bw'afaanana, nga bwe yaweerezanga nange Evangili ng'omwana akola ne kitaawe.
23
Ono nno nsuubira okumusindika amangu gye muli bwe nnaamala okulaba ebyange wano nga bwe bigenda.
24
Nange neesize Omukama nti sijja kulwa kujja gye muli.
25
Ndabye nga kyetaagisa okusindika amangu gye muli Epafuradito, owooluganda, bwe tukola, mutabaazi munnange, omubaka wammwe ate omuweereza mu bwetaavu bwange.
26
Abadde abalumirwa mwenna omwoyo, era mweraliikirivu kubanga mwawulira bwe yali omulwadde.
27
Kituufu, yalwala era kumpi kufa; kyokka Katonda yamusaasira; si ye yekka, nange yansaasira, anti nandiyimbye ennaku ku nnaku.
28
Nfubye nnyo okulaba ng'oyo mmusindika mumulabeko, muddemu okusanyuka, nange nkendeeze ku kweraliikirira.
29
Mumwanirize n'essanyu lyonna mu Mukama; abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa.
30
Yabula kata afe olw'okubeera omulimu gwa Kristu. Obulamu bwe yabussa mu kabi amalirize ebyali bikyabula ku bye mwali munkolera.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4