bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Philippians 3
Philippians 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Ekisembayo, baganda bange, musanyuke mu Mukama. Ebimu okuddamu okubibawandiikira, tekinkooya, ate nammwe kibayamba okuba n'emirembe.
2
Mwerinde embwa, mwerinde abakozi b'obubi, mwerinde abakomola.
3
Ffe batayirire aba nnamaddala, ffe abasinza Katonda mu Mwoyo, abeetendera mu Kristu Yezu, obwesige bwaffe obutatuli mu mubiri.
4
Sso nze nandisobodde okwesiga omubiri. Oba waliwo alina ekimwesiza omubiri, nze nandibadde n'okwesiga okusingawo:
5
anti nze natayirirwa ku lunaku olwomunaana, ndi wa mu ggwanga lya Yisirayeli, wa mu kika kya Benyamiini, ndi Mwebureeyi eyazaalibwa Abeebureeyi, mu by'amateeka nali Mufarisaayo,
6
ate ng'omutakabanyi, nayigganya Ekleziya; ku bikwata ku butuukirivu obw'omu Tteeka, siriiko kinvunaanibwa.
7
Naye olw'okubeera Kristu, ebyo bye nayitanga amagoba, kati ndaba nga kwali kufiirwa.
8
Ddala ddala ndaba nga kwali kufiirwa olw'ekigambo eky'okumanya Kristu Yezu Mukama wange ekitenkanika. Olw'okubeera ye byonna nabifiirwa; byonna mbiyita bisasiro ndyoke neewangulire Kristu,
9
mbeere mu ye, nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu Tteeka, wabula obwo obuva mu kukkiriza Kristu, obutuukirivu obuva ewa Katonda olw'okukkiriza.
10
Njagala mmumanye, mmanye n'amaanyi agali mu kuzuukira kwe, ngabane ne ku kubonaabona kwe, mmufaanane mu kufa kwe,
11
nange singa kisoboka ntuuke ku kuzuukira mu bafu.
12
Si kwe kugamba nti kino nkifunye, oba nti ntuukiridde. Nedda, nnyongera bwongezi kufuba nkikwate nga Kristu Yezu bwe yankwata.
13
Abooluganda, sigamba nti mmaze okukikwata, wabula kimu kyokka kye nkola: ebyangwa enkoto mbyerabidde, nduubirira bino ebindi mu maaso;
14
nfaabiina ntuuke ku mpeera ey'obuwanguzi, kwe kuyitibwa okwa waggulu Katonda kwe yatuyitira mu Kristu Yezu.
15
Ffe ffenna ababalirwa mu bakuze ebirowoozo ogwo gwe mutima gwe tusaanye okuba nagwo. Oba waliwo kye mutalinaako mutima gutyo, Katonda ekyo ajja kukibabikkulira.
16
Wabula kimu kyokka: tunywerere ku ekyo kye twafunye.
17
Abooluganda, mubeere kimu mu kundabirako, era mulabire ku abo abayisa nga bwe twabawa ekyokulabirako.
18
Kubanga abangi mu abo be nababuulirako emirundi emingi, era kati be mbabuulira nga nkaaba n'okukaaba, engeri gye bayisaamu ya balabe ba musaalaba gwa Kristu.
19
Enkomerero yaabwe kuzikirira; katonda waabwe lwe lubuto, ettendo lyabwe liri mu bibaswaza, n'ebirowoozo byabwe biggweeredde ku bya nsi.
20
Sso ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, tulindirira nti Omulokozi gy'anaava, Omukama Yezu Kristu,
21
oyo alifuula omubiri gwaffe guno ogutalina bwe guli n'agufaananya omubiri gwe ogw'ekitiibwa nga yeeyamba obuyinza obumusobozesa byonna okubissa wansi we.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4