bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ruth 1
Ruth 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Mu nnaku abalamuzi we baali bafugira, enjala yagwa mu nsi. Omusajja n'ava e Beteleemu ekya Yuda, ng'ali ne mukazi we n'abaana be babiri, n'agenda agire ng'abeera mu nsi y'e Mowabu.
2
Erinnya lye nga ye Elimeleki, ate mukazi we nga ye Nawomi; amannya g'abatabani be ababiri nga be ba Makuloni ne Kiliyoni; baali basibuka Efurata mu Beteleemu ekya Yuda. Baagenda mu nsi y'e Mowabu ne babeera eyo.
3
Olwali olwo Elimeleki bba wa Nawomi n'afa, ye n'asigala ne batabani be ababiri;
4
abalenzi ne bawasa abakazi Abamowabu, omu ng'ayitibwa Orupa, ate omulala Ruusi; ne babeera eyo emyaka nga kkumi.
5
Ate bombi Makuloni ne Kiliyoni ne bafa, Nawomi n'asigala ng'afiiriddwa bba ne batabani be bombi.
6
Bwe yawulira nti Omukama adduukiridde abantu be, n'abawa emmere, kwe kusituka ave mu nsi y'e Mowabu adde ku butaka ne bakaabaana bombi.
7
N'asitula ne bakaabaana bombi, n'ava mu nsi gye yali abeera, ne yessa mu kkubo erimuzza mu nsi ya Yuda.
8
Nawomi n'agamba bakaabaana be ababiri nti: “Muddeeyo buli omu ewa nnyina. Omukama abagirire ekisa, nga nammwe bwe mwakigirira nze n'abagenzi.
9
Omukama abawe, mufune okuwummula buli omu mu maka ga bba.” N'abanywegera. Bo ne batema emiranga ne bakaaba,
10
ne bagamba nti: “Tujja kugenda naawe mu bantu bo.”
11
Naye Nawomi n'abaanukula nti: “Bawala bange, mweddire ewammwe. Lwaki mugenda nange? Nkyalina abaana mu lubuto abalisobola okufuuka babbammwe?
12
Mweddire ewammwe, bawala bange; mugende, nze neekaddiyidde, sikyasobola kufumbirwa. Ne bwe nandigambye nti wakyaliyo essuubi, n'ekiro kino ne nfumbirwa ne nzaala abalenzi,
13
mwandirinze okutuusa nga bakuze? Mwandigize muleka okufumbirwa olw'okubeera bo? Nedda, bawala bange; nnyolwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gw'Omukama gwavaayo okunkuba.”
14
Ne batema emiranga, ne baddamu buto okukaaba. Orupa n'anywegera nnyazaala we, naye ye Ruusi n'amulemerako.
15
Nawomi n'amugamba nti: “Laba muganda wo wuuli azzeeyo mu bantu be n'eri balubaale be, ddayo naye.”
16
Ruusi n'ayanukula nti: “Tonkaka kukuleka, oba kuva ku kya kukugoberera, “kubanga yonna gy'onoogenda nange gye nnaagenda; w'onoosulanga nange we nnaasulanga. Abantu bo be baliba abantu bange; Katonda wo y'aliba Katonda wange.
17
Gy'olifiira, nange gye ndifiira; eyo nange gye balinziika. Omukama ankole bw'atyo, ate ddala asinze nawo, singa si lumbe lwe lulitwawukanya.”
18
Nawomi bwe yalaba nga Ruusi amaliridde okugenda naye, n'alekera awo okumuwakanya.
19
Awo bombi ne bagenda, ne batuuka e Beteleemu. Bwe baayingira ekibuga, ekibuga kyonna ne kisasamala olw'okubeera bo. Abakazi ne bagamba nti: “Ono si ye Nawomi.”
20
N'abagamba nti: “Temumpita Nawomi, wabula Mara, kubanga Omuyinza wa buli kantu obulamu bwange yabujjuza ennyiike.
21
“Nagenda ndi mujjuvu, Omukama ankomezzaawo nga ndi mwereere. Mumpitira ki Nawomi, nze Omukama gwe yabonyaabonya, Omuyinza wa buli kantu gwe yalabya ennaku?”
22
Bw'atyo Nawomi n'ajja ne Ruusi Omumowabu, mukaamwana, ng'adda okuva mu nsi y'e Mowabu. Baatuuka e Beteleemu ng'amakungula ga sayiri gatandika.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4