bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ruth 2
Ruth 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Nawomi yalina mulamu we, omusajja omugagga, ow'omu kika kya Elimeleki, erinnya lye nga ye Bowazi.
2
Ruusi Omumowabu n'agamba nnyazaala we nti: “Nsaba kugenda mu nnimiro nnonderere ebirimba ebigenda bifikkira, mu buwufu bw'oyo gwe nnaasangako ekisa mu maaso ge.” Nawomi n'amwanukula nti: “Genda, muwala.”
3
N'agenda, n'alonderera ebirimba abakesa mwe baabanga bayise. Kazzi ennimiro gye yeesangamu nga nnyiniyo ye Bowazi ow'omu kika kya Elimeleki.
4
Ate mu kadde ako Bowazi naye n'atuuka ng'ava e Beteleemu, n'alamusa abakesa nti: “Omukama abeere nammwe.” Nabo ne bamwanukula nti: “Omukama akuwe omukisa.”
5
Bowazi n'abuuza nnampala w'abakesa nti: “Omuwala ono w'ani?”
6
Nnampala n'addamu nti: “Oyo ye muwala Omumowabu; yajja ne Nawomi nga bava mu nsi y'e Mowabu.
7
Yasabye nti: ‘Munzikirize nnonderere, nkuŋŋaanye mu binywa nga ngoberera abakesa mwe baba bayise.’ Yazze era obwedda akola okuva ku makya n'okutuusa kati, nga tawumuddeemu n'akatono.”
8
Awo Bowazi n'agamba Ruusi nti: “Muwala, wulira; togenda kulonderera mu nnimiro ndala, tova na mu kifo kino, wabula sigala kumpi wano ne bawala bange.
9
Laba we bakungula, naawe ogende ng'obagoberera. Ŋŋambye abalenzi wabulewo akusobeza; ennyonta bw'ekuluma, genda ku nsumbi onywe ku mazzi abalenzi ge baakimye.”
10
Ruusi n'agwa nga yeevuunise ku maaso ge, n'avunnama ku ttaka, n'amugamba nti: “Kinviiridde ku ki nze okusanga ekisa mu maaso go n'onfaako, nze omukazi omugwira?”
11
Bowazi n'amuddamu nti: “Bambuulira byonna bye wakolera nnyazaala wo okuva lwe wafiirwa balo, nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi yo mw'ozaalibwa n'ojja mu bantu be wali tomanyi mu kusooka.
12
Omukama akuweere olwa kino ky'okoze, ofune n'empeera enzijuvu ew'Omukama Katonda wa Yisirayeli gy'ozze, nnyini biwaawaatiro mw'oddukidde.”
13
Ne Ruusi n'agamba nti: “Mukama wange, singa nno nnyongedde okusanga ekisa mu maaso go! Onkubagizza, n'oŋŋumya newandibadde nga sisaanira na kubeera omu ku bawala bo abakuweereza.”
14
Obudde obw'okulya bwe bwatuuka, Bowazi n'amugamba nti: “Jjangu wano, funa ku kagaati, okoze ne mu nkaatu.” Ruusi n'atuula awo ku lusegere lw'abakesa, n'amuweereza empeke ensiike, n'alya, n'akkuta n'alemwa n'okulemwa.
15
Bwe yasituka alonderere ebirimba, Bowazi n'alagira abalenzi be nti: “Ne bw'akuŋŋaanya mu binywa, temumusobeza.
16
Ne ku miganda musowoleemu ebirimba mubisuule awo alonderonde, temumukaabukira.”
17
Ruusi n'alonderera mu nnimiro okutuusa akawungeezi. Bye yakuŋŋaanya n'abiwuula; sayiri gwe yaggyamu n'aweza ng'efa nnamba.
18
N'abitwala, n'addayo mu kibuga; nnyazaala we n'alaba bye yali akuŋŋaanyizza, era n'aggyayo n'amuwa ku mmere eyali efisseewo ng'amaze okukkuta.
19
Nnyazaala we n'amugamba nti: “Leero wakuŋŋaanyizza wa? Wakoledde wa? Aweebwe omukisa oyo eyakufuddeko.” N'abuulira nnyazaala we ew'oyo gye yakoledde, n'amugamba nti: “Erinnya ly'omusajja gwe nkoze naye ye Bowazi.”
20
Ko Nawomi nti: “Omukama amuwe omukisa, oyo ataggya kisa kye ku balamu n'abafu.” Ate n'amugamba nti: “Oyo wa luganda lwaffe; ali mu abo abalina obuvunaanyizibwa okutununula.”
21
Ko Ruusi Omumowabu nti: “Yandagidde na kino nti: ‘Sigala n'abakozi bange, okutuusa bye bankungulira byonna nga biweddewo.’ ”
22
Nawomi n'agamba Ruusi mukaamwana we nti: “Muwala, ekyo kye kisinga obulungi gy'oli singa onoosigala kumpi ne bawala be, kubanga mu nnimiro y'omulala okyayinza okusobezebwa.”
23
Bw'atyo Ruusi n'asigala ne bawala ba Bowazi okulonderera okutuusa eŋŋano ne sayiri byonna nga bimaze okukungulibwa; kyokka yabeeranga wa nnyazaala we.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4