bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ruth 4
Ruth 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Awo Bowazi n'ayambuka ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Aba akyali awo ow'oluganda omu eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula n'atuuka, n'amugamba nti: “Kyamako otuule wano;” n'akyama, n'atuula.
2
Bowazi n'aleeta kkumi ku bakadde b'omu kibuga n'abagamba nti: “Mutuule wano;” nabo ne batuula.
3
Awo n'agamba eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula nti: “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi y'e Mowabu, atunda ekitundu ky'ettaka lya muganda waffe Elimeleki.
4
Njagadde nkikugambe, okiwulire, nkuwe n'ekirowoozo oligule mu maaso ga bonna abatudde wano, n'ag'abakadde, abakulu mu bantu bange. Bw'oba obuvunaanyizibwa onoobutwala n'olinunula, kikole; bw'obanga toolinunule, mbuulira mmanye. Anti tewali wa luganda mulala alina kukola ekyo okuggyako ggwe, ate nze nkuddirira.” Ye n'ayanukula nti: “Nzija kulinunula.”
5
Bowazi kwe kumugamba nti: “Lw'ogula ettaka n'oliggya ku Nawomi ne Ruusi Omumowabu, ne nnamwandu w'omufu oteekwa okumutwalirako, osigazeewo erinnya ly'omufu n'obusika bwe.”
6
Eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula n'agamba nti: “Sijja kulinunula, kubanga bwe nkikola, nzija kugootaanya eby'obusika by'omu nnyumba yange. Ggwe linunule, nze sijja kusobola.”
7
Kati nno edda mu Yisirayeli waalingayo empisa nti mu kununula ne mu kuwaanyisaganya ebintu, oli okukakasa nti ekikye akiviiriddemu ddala, yanaanulanga engatto ye n'agiwa munne; mu Yisirayeli bwe baajuliranga batyo.
8
Eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula bw'atyo naye yagamba Bowazi nti: “Lyegulire;” n'anaanula engatto ye mu kigere.
9
Bowazi n'alangirira eri abakadde n'abantu bonna nti: “Olwa leero mmwe mubaddewo ng'abajulirwa, byonna ebibadde ebya Elimeleki ne Kiliyoni ne Makuloni kati mbiguze ku Nawomi,
10
ne Ruusi Omumowabu, mukazi wa Makuloni, naye mmututte abeere mukazi wange, nsigazeewo erinnya ly'omufu n'obusika bwe busigalewo, erinnya lye lireme kuggweekerera mu baganda be ne mu kibuga kye. Kale nno mmwe bajulirwa b'ekigambo kino.”
11
Abantu bonna abaali ku mulyango n'abakadde ne baanukula nti: “Tuli bajulirwa. Omukazi ono agenda okuyingira mu nnyumba yo, Omukama amukolere nga bwe yakolera Rakeli ne Leya, bombi abaazimba ennyumba ya Yisirayeli. “ ‘Beera muzira mu Efurata, era erinnya lyo limanyike mu Beteleemu.’
12
“Mu mwana Omukama gw'aliba akuwadde mu muwala ono, ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Perezi, Tamari gwe yazaalira Yuda.”
13
Bw'atyo Bowazi n'atwala Ruusi, n'afuuka mukazi we. Bowazi yajja gy'ali, Omukama n'amuwa n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi.
14
Abakazi ne bagamba Nawomi nti: “Omukama agulumizibwe, olwa leero ataakulese kubulwa wa kukununula; erinnya lye litenderezebwe wonna mu Yisirayeli.
15
Omwana alizza buto obulamu bwo, alikulabirira ne mu bukadde bwo, kubanga mukaamwana wo oyo akwagala, akusingira n'abaana ab'obulenzi omusanvu, y'amuzadde.”
16
Nawomi n'addira omwana n'amussa ku mubiri gwe, n'aba mukuza we.
17
Abakazi ab'oku muliraano ne bamuwa erinnya, ne bagamba nti: “Nawomi afunye omwana ow'obulenzi.” N'atuumibwa Obedi; ye oyo kitaawe wa Yesse azaala Dawudi.
18
Lino lye zzadde lya Perezi: Perezi yazaala Kezuroni;
19
Kezuroni n'azaala Ramu; Ramu n'azaala Amminadabu;
20
Amminadabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumoni;
21
Salumoni n'azaala Bowazi: Bowazi n'azaala Obedi;
22
Obedi n'azaala Yesse, ate Yesse n'azaala Dawudi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4