bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ruth 3
Ruth 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Olumu Nawomi, nnyazaala we, n'amugamba nti: “Muwala, olowooza sandikuzuulidde we wandibadde owummulira n'oba bulungi?
2
Ne Bowazi nnyini bawala b'obadde nabo mu nnimiro, si wa luganda lwaffe? Ate laba ekiro kino yennyini ajja kubeera ng'awewa sayiri mu gguuliro lye.
3
Awo nno, naaba, weekube obuwoowo, oyambale engoye zo ennungi, oserengete mu gguuliro; naye tomweraga okutuusa ng'amaze okulya n'okunywa.
4
Bw'anaaba agenze okwebaka, wekkaanye ekifo we yeebase; oluvannyuma ojja kugenda obikkule ebigere bye, weebake, ye anaakubuulira eky'okukola.”
5
Ruusi n'addamu nti: “Kyonna ky'onooba ondagidde, nzija kukikola.”
6
N'aserengeta mu gguuliro, n'akola byonna nnyazaala we bye yali amulagidde.
7
Bowazi bwe yamala okulya n'okunywa, ng'acamuseemu, n'agenda yeebaka eri egguuliro gye likoma kumpi n'entuumu z'emiganda. Ruusi n'asooba mpola n'amubikkula ebigere, ne yeebaka awo.
8
Mu ttumbi wakati Bowazi ekintu ne kimusisimula, n'asituka, n'alaba omukazi nga yeebase eri ku bigere bye.
9
N'amubuuza nti: “Ggwe ani?” Ko ye nti: “Nze Ruusi omuzaana wo. Bikka omuzaana wo n'omunagiro gwo kubanga ggwe oteekwa okunnunula.”
10
Ko Bowazi nti: “Muwala, Omukama akuwe omukisa; ekisa n'obwesigwa bwo kati bisinze n'ebyasooka, kubanga tozze mu kunoonya bavubuka, abaavu oba abagagga.
11
Leka nno kutya, muwala; kyonna ky'onoogamba nzija kukikukolera; anti abantu bonna ab'omu kibuga kyange bakumanyi bw'oli omukazi ow'ekitiibwa.
12
Sigaanyi, nze nteekeddwa okukununula, naye waliyo ow'oluganda obuvunaanyizibwa obw'okukununula gwe bugwako ennyo okusinga nze.
13
Sigala ekiro kino; nga bukedde, bw'anaayagala okukununula, kale anaakununula; bw'anaaba tayagadde, Mazima Omukama nga mulamu, tewali kubuusabuusa, nze nnaakununula. Weebake okutuusa enkya.”
14
Ruusi ne yeebaka awo ku bigere bye okutuusa enkeera; naye yazuukuka bukyali ng'abantu tebannasobola kwawula ono ku oli. Bowazi n'agamba nti: “Wekkaanye! Tewabaawo amanya nti omukazi yazzeeko wano mu gguuliro.”
15
N'agamba era nti: “Ndeetera omunagiro gwe weebikkiridde, ogwanjuluze.” Bwe yagwanjuluza, Bowazi n'ayiwamu ebipimo mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka. N'addayo mu kibuga.
16
Ruusi bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n'amubuuza nti: “Muwala, bikugendedde bitya?” Ruusi n'amunyumiza byonna oli bye yali amukoledde,
17
n'ayongerako nti: “Yampadde n'ebipimo mukaaga ebya sayiri ng'agamba nti: ‘Saagala odde wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
18
Nawomi n'agamba nti: “Muwala, lindako okutuusa ng'otegedde gye bikkidde, kubanga mmanyi omuntu oyo tajja kuweera okutuusa ng'ebintu abigonjodde olwa leero.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4