bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Peter 1
1 Peter 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya,
2
abaalondebwa okusinziira ku kutegeerwa Katonda Kitaffe, n'okutukuzibwa kw'Omwoyo, olw'okugondera Yesu Kristo n'okumansirwako omusaayi gwe, ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.
3
Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogwokubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu.
4
Tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu,
5
amaanyi ga Katonda be gakuuma olw'okukkiriza okufuna obulokozi obweteeseteese okubikkulibwa mu biro eby'enkomerero.
6
Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira,
7
okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa.
8
Newakubadde temumulabangako naye mu mwagala; gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa.
9
Bwe mutyo ne muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu bwammwe.
10
Bannabbi abaategeezanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli, baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga eby'obulokozi buno.
11
Banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera.
12
Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza.
13
Kale musibenga ebimyu by'amagezi gammwe, mutamiirukukenga, musuubirirenga ddala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa;
14
ng'abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw'edda okw'omu butamanya bwammwe.
15
Naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna.
16
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.”
17
Era bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisa mu biro byammwe eby'okuba abayise.
18
Mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe;
19
wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi ogwa Kristo, ogulinga ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala.
20
Oyo eyategeerebwa edda ensi nga tezinnatondebwa, naye n'alabisibwa ku nkomerero y'ebiro ku lwammwe.
21
Okuyita mu ye, mulina obuvumu mu Katonda, eyamuzuukiza mu bafu n'amuwa ekitiibwa; okukkiriza kwammwe n'okusuubira biryoke bibeerenga mu Katonda.
22
Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw'okwagalanga ab'oluganda okutaliimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima ogutuukiridde.
23
Mwazaalibwa omulundi ogwokubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera.
24
Kubanga “Abantu bonna bali ng'omuddo, N'ekitiibwa kyabwe kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo guwotoka ekimuli ne kigwa,
25
naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe n'emirembe.” Era ekyo kye kigambo eky'Enjiri eky'ababulirwa.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5