bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Peter 3
1 Peter 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bawaangulwenga si lwa bigambo naye olw'empisa z'abakazi baabwe;
2
kubanga bannalabanga empisa zammwe ennongoofu ez'okutya.
3
Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye;
4
naye omuntu ow'Omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.
5
Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini;
6
nga Saala bwe yagondera Ibulayimu, ng'amuyita omwami. Kale nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.
7
Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.
8
Eky'enkomerero, mwenna mubeerenga n'emmeeme emu, abasaasiragana, abaagala ab'oluganda, ab'ekisa, era abawombeefu.
9
Temuwalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, mubeere abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.
10
Kubanga, “Ayagala obulamu, N'okulaba ennaku ennungi, Aziyizenga olulimi lwe mu bubi, N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa.
11
Era yeewalenga obubi, akolenga obulungi; Anoonyenga emirembe, agigobererenga.
12
Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe. Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.”
13
Era ani anaabakolanga obubi, bwe munaanyiikiranga obulungi?
14
Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa. Temutyanga kutiisa kwabwe, era temweraliikiriranga;
15
naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe, nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya.
16
Mubeerenga n'omwoyo omulungi; bwe banabavumanga, abo ababoogerako obubi, olw'empisa zammwe ennungi mu Kristo balyoke bakwatibwenga ensonyi.
17
Kubanga kye kisinga obulungi, okubonyaabonyezebwa olw'okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kwagala kwa Katonda, okusinga okubonyaabonyezebwa olw'okukola obubi.
18
Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo;
19
era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera.
20
Edda abataagonda, Katonda bwe yabagumiikiriza, mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyazimbibwa, amazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana.
21
Okubatiza okugerageranyizibwa n'amazzi gano kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'Omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,
22
ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5