bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Peter 2
1 Peter 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Kale muteekenga wala obubi bwonna n'obukuusa bwonna n'obunnanfuusi n'obuggya n'okwogera obubi kwonna.
2
Ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku kulokoka.
3
Kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama waffe.
4
Mujje eri oyo ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi,
5
era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwamu ennyumba ey'Omwoyo mubeerenga bakabona abatukuvu, okuwangayo ssaddaaka ez'Omwoyo, ezisiimibwa Katonda mu Yesu Kristo.
6
Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti, “Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi; Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.”
7
Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi, naye eri abatakkiriza, “Ejjinja abazimbi lye baagaana, eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda;”
8
era “Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula.” Beesittala kubanga tebaagondera kigambo, nga bwe baali baateekeddwa okukola.
9
Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala kye eky'ekitalo.
10
Edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda; abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa.
11
Abaagalwa, mbeegayirira ng'abayise n'abatambuze, okwewalanga okwegomba kw'omubiri okulwana n'obulamu.
12
Munywezenga empisa zammwe ennungi mu b'amawanga, nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku lwalirabikirako.
13
Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe, oba kabaka nga ye asinga bonna;
14
oba abaamasaza, kubanga ye b'atuma olw'okukangavvulanga abakola obubi, n'olw'okusiimanga abakola obulungi.
15
Kubanga Katonda bw'ayagala bw'atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw'abantu abasirusiru nga mukola obulungi.
16
Mubeere ba ddembe, so si ng'abalina eddembe lyammwe olw'okukisa obubi, naye ng'abaddu ba Katonda.
17
Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab'oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka.
18
Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe mu kutya kwonna, si balungi bokka n'abawombeefu, naye era n'abakambwe.
19
Kubanga kino kye kisiimibwa, omuntu bw'agumiikiriza okulumwa olw'okujjukira Katonda, ng'abonyaabonyezebwa awatali nsonga.
20
Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? Naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.
21
Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.
22
Ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke.
23
Bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw'ensonga.
24
Ye yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya.
25
Kubanga mwali mukyama ng'endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5