bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Peter 4
1 Peter 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mubiri, nammwe mubeerengamu endowooza eyo; kubanga oyo yenna abonyaabonyezebwa omubiri ng'amaze okuleka ebibi;
2
mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si lwa kwegomba kw'abantu, naye olw'ebyo Katonda by'ayagala.
3
Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo.
4
Kaakano beewuunya kubanga temukyabeegattako mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, era babavuma.
5
Baliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu.
6
Eno ye nsonga Enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo.
7
Naye enkomerero ya byonna eri kumpi; kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba.
8
Okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka, kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.
9
Musembezeganyenga mwekka na mwekka awatali kwemulugunya.
10
Buli muntu nga bwe yaweebwa ekirabo, mukikozesenga mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu.
11
Omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali, mu byonna Katonda agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12
Abaagalwa, temwewuunyanga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo.
13
Naye musanyukenga, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, era nate mulyoke musanyukenga n'okujaguza ekitiibwa kye bwe kiribikkulibwa.
14
Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
15
Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne;
16
naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.
17
Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda; kale, oba nga gusoose gyetuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda?
18
Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonoonyi alirabikira wa?
19
Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obulungi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5