bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Timothy 1
2 Timothy 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ng'okusuubiza bwe kuli okw'obulamu obuli mu Kristo Yesu,
2
eri Timoseewo, omwana wange omwagalwa; ekisa, okusaasira, n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe.
3
Nneebaza Katonda gw'empeereza mu mwoyo omulungi, era nga bajjajjange bwe baakola, bwe nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange.
4
Bwe nzijukira amaziga go, neegomba emisana n'ekiro okukulaba ndyoke njijule essanyu.
5
Nzijukizibwa okukkiriza kwo okutaliimu bukuusa, okukkiriza okwabeeranga olubereberye mu jjajjaawo Looyi ne mu nnyoko Ewuniike, era ntegeeredde ddala nga kuli ne mu ggwe.
6
Kyenva nkujjukiza okuseesanga ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe olw'okuteekebwako emikono gyange.
7
Kubanga Katonda teyatuwa ffe omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaanyi era ogw'okwagala era ogw'okwegenderezanga.
8
Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we, naye obonyaabonyezebwanga wamu n'Enjiri ng'amaanyi ga Katonda bwe gali;
9
eyatulokola n'atuyita okuyita okutukuvu, si ng'ebikolwa byaffe bwe biri, wabula okumalirira kwe ye n'ekisa bwe biri, kye twaweerwa mu Kristo Yesu emirembe n'emirembe nga teginnabaawo.
10
Naye kaakano kirabisibwa olw'okwolesebwa kw'Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyaggyawo okufa n'aleeta obulamu n'obutafa mu kitangaala okuyita mu njiri,
11
gye nnateekerwawo okuba omubuulizi era omutume era Omuyigiriza.
12
Era kyenva mbonaabona bwe ntyo, naye sikwatibwa nsonyi; kubanga mmanyi gwe nnakkiriza, ne ntegeerera ddala ng'ayinza okukuumanga kye nnamuteresa okutuusa ku lunaku luli.
13
Nywezanga ekyokulabirako eky'ebigambo eby'obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kukkiriza ne mu kwagala okuli mu Kristo Yesu.
14
Ekintu ekirungi kye wateresebwa okikuumenga n'Omwoyo Omutukuvu, abeera mu ffe.
15
Kino okimanyi nga bonna abali mu Asiya bankuba amabega; ku abo ye Fugero ne Kerumogene.
16
Mukama waffe asaasire ennyumba ya Onesifolo, kubanga yampummuzanga emirundi mingi, so teyakwatirwa nsonyi lujegere lwange,
17
naye bwe yali mu Ruumi n'anyiikira okunnoonya n'okulaba n'andaba.
18
(Mukama waffe amuwe okulaba okusaasirwa eri Mukama waffe ku lunaku luli), era n'okuweereza kwonna kwe yaweerezanga mu Efeso, ggwe okutegeera bulungi nnyo.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4