bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Timothy 3
2 Timothy 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Naye tegeera kino nga mu nnaku ez'oluvannyuma walibaawo ebiro eby'okulaba ennaku.
2
Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, si batuukirivu,
3
abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi,
4
ab'enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda.
5
Balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo, abantu bwe batyo obakubanga amabega.
6
Kubanga mu abo mulimu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu,
7
abayiga bulijjo, naye ne batayinza ennaku zonna okutuuka ku kutegeerera ddala amazima.
8
Era nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa, ne bano bwe batyo baziyiza amazima; abayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kukkiriza.
9
Naye tebalyeyongera wala nnyo, kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa ddala abantu bonna, era ng'obwa bali bwe bwategeerebwa.
10
Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange,
11
okuyigganyizibwa kwange, n'okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, ne mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali, era Mukama waffe yandokola mu byonna.
12
Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez'okutya Katonda banaayigganyizibwanga.
13
Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu kukola obubi, nga balimba era nga balimbibwa.
14
Naye ggwe beeranga mu ebyo bye wayiga n'otegeerera ddala, ng'omanyi abakuyigiriza bwe bali;
15
era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu kulokoka olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
16
Ebyawandiikibwa byonna ebitukuvu birina okuluŋŋamya kwa Katonda era bigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu:
17
omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4