bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Timothy 4
2 Timothy 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe;
2
buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n'eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza.
3
Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli;
4
baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo.
5
Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'Enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.
6
Kubanga nze kaakano nsemberedde okufa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse.
7
Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye.
8
Kaakano ekisigaddeyo, engule enterekeddwa ey'obutuukirivu, Mukama waffe gy'alimpeera ku Lunaku luli, asala emisango egy'ensonga, so si nze nzekka, naye era ne bonna abaagala okulabika kwe.
9
Fuba okujja gye ndi mangu,
10
kubanga Dema yandekawo, ng'ayagala eby'ensi eno, n'agenda e Ssessaloniika; Kulesuke n'agenda e Ggalatiya, ne Tito n'agenda e Dalumatiya.
11
Lukka ye ali awamu nange yekka. Laba Makko, mujje naye; kubanga angasa olw'okuweereza.
12
Naye Tukiko nnamutuma mu Efeso.
13
Ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo, bw'oliba ng'ojja, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, biri eby'amaliba.
14
Alegezanda omuweesi w'ebikomo yankola obubi bungi, Mukama waffe alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byali.
15
Oyo naawe omwekuumanga; kubanga yaziyiza nnyo ebigambo byaffe.
16
Mu kuwoza kwange okw'olubereberye tewali yannyamba, naye bonna banjabulira, nsaba baleme okukibalirwa.
17
Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n'ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire, bwentyo ne ndokoka mu kamwa k'empologoma.
18
Mukama waffe anaamponyanga mu buli kikolwa ekibi, era anandokolanga olw'obwakabaka bwe obw'omu ggulu, aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe Amiina.
19
Lamusa Pulisika ne Akula, n'ennyumba ya Onesifolo.
20
Erasuto yasigala mu Kkolinso, naye Tulofiimo nnamuleka mu Mireeto ng'alwadde.
21
Fuba okujja ebiro eby'obutiti nga tebinnatuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n'ab'oluganda bonna.
22
Mukama waffe abeerenga n'omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4