bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Timothy 2
2 Timothy 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu.
2
Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala.
3
Bonaaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu.
4
Tewali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika okuba omulwanyi.
5
Naye era omuntu bweyetaba mu mbiro ez'empaka, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa.
6
Omulimi akola emirimu n'amaanyi yasaana okusooka okutwala ku bibala.
7
Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna.
8
Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow'omu zzadde lya Dawudi, ng'enjiri yange bw'eyogera;
9
Enjiri eyo gye mbonaaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng'akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa.
10
Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune okulokoka okuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo.
11
Ekigambo kino kyesigwa nti, “Oba nga twafa naye, era tulibeera balamu wamu naye.
12
Bwe tugumiikiriza, era tulifugira wamu naye; bwe tumwegaana, era naye alitwegaana.
13
Bwe tutabeera beesigwa, ye abeera mwesigwa, kubanga tayinza kwegaana kyali.”
14
Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira.
15
Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima.
16
Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga, kubanga bireetera abantu kweyongera bweyongezi mu butatya Katonda.
17
Ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo; ku abo ye Kumenayo ne Fireeto;
18
kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe.
19
Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti, “Mukama waffe amanyi ababe,” era nti, “Buli ayatula erinnya lya Mukama, yeewalenga obutali butuukirivu.”
20
Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era mubaamu n'eby'emiti n'eby'ebbumba; n'ebirala eby'ekitiibwa, n'ebirala ebitali bya kitiibwa.
21
Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga, ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi.
22
Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga, naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe, awamu n'abo abasaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu.
23
Naye empaka ez'obusirusiru era ez'obutayigirizibwa ozirekanga, ng'omanyi nga zizaala okulwana.
24
Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza,
25
abuulirira n'obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima,
26
era balyoke badduke okuva mu mutego gwa Setaani, oyo eyabanyaga okukolanga by'ayagala.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4