bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Colossians 1
Colossians 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda,
2
eri abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe.
3
Buli bwe tubasabira twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo,
4
kubanga twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n'okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna,
5
olw'essuubi eryabaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky'amazima ag'Enjiri,
6
eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya Katonda mu mazima;
7
nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu munnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe,
8
era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo.
9
Naffe kyetuva tetulekaangayo kubasabira okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, nga tubeegayiririra mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo,
10
era mutambulenga nga bwe kisaanira Mukama, nga mumusanyusa, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mweyongeranga mu kutegeera Katonda.
11
Kale munywezebwenga n'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka;
12
nga mwebaza Kitaffe, eyatusaanyiza ffe omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana,
13
eyatulokola mu buyinza obw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka obw'Omwana we omwagalwa;
14
mwe tubeerera n'okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw'ebibi byaffe.
15
Oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna;
16
kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba buyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye, era ku lulwe.
17
Naye ye yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe bibeereraawo.
18
Era oyo gwe mutwe gw'omubiri, ye kkanisa: oyo lwe lubereberye, omubereberye ow'omu bafu; ye alyoke abeerenga waggulu wa byonna.
19
Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye;
20
era nga ayita mu ye okutabaganya ebintu byonna eri ye yennyini, oba ku nsi oba mu ggulu, bwe yaleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe.
21
Nammwe, mmwe abali beeyawudde ku Katonda, era abalabe mu kulowooza kwammwe, nga mukola ebikolwa ebibi,
22
naye kaakano abatabaganyiza mu mubiri gw'ennyama ye olw'okufa kwe, alyoke abanjule abatukuvu era abatalina kya kunenyezebwa era abataliiko bbala mu maaso ge,
23
kasita mweyongera okubeera mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa ebitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo.
24
Kaakano nsanyukira mu bibonoobono byange ku lwammwe, era mu mubiri gwange ntuukiriza ebyo ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo olw'omubiri gwe, ye kkanisa;
25
nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda,
26
ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kibikuliddwa abatukuvu be,
27
Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa obw'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa:
28
gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo.
29
Olw'ekyo nfuba n'amaanyi gonna gatadde mu ngeri ey'ekitalo mu nze.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4