bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Colossians 3
Colossians 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
2
Mulowoozenga ku by'omu ggulu, so si ebiri ku nsi.
3
Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda.
4
Kristo, obulamu bwaffe, bw'alirabisibwa, era nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
5
Kale mufiise eby'ensi mu mmwe: obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi;
6
olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira;
7
era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwabikolanga ebyo.
8
Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, era n'okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe.
9
Temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye,
10
ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda.
11
Awo waba tewakyali kwawula Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n'ataakomolebwa, munnaggwanga n'Omusukusi, omuddu n'ow'eddembe, naye Kristo bye bintu byonna era yali mu byonna.
12
Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza;
13
nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe musonyiwaganenga.
14
Ku ebyo byonna era mwambalireko okwagalana, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
15
Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza.
16
Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga mwebaza Katonda mu mitima gyammwe.
17
Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe nga muyita mu ye.
18
Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.
19
Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakambuwaliranga.
20
Abaana, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kisanyusa Mukama.
21
Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira mu mwoyo.
22
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu nsi mu byonna, si kubasanyusa kubanga ba balaba, naye mubagonderenga n'omutima ogutalimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe.
23
Buli kye mukola mukikolenga n'omutima gwammwe gwonna, ng'abakolera Mukama waffe, so si abantu;
24
nga mumanyi nga mulisasulibwa Mukama waffe empeera ey'obusika; muweereza Mukama waffe Kristo.
25
Kubanga ayonoona alisasulwa nga bwe yayonoona, so tewaliba kusaliriza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4