bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Colossians 4
Colossians 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Bakama b'abaddu, muyisenga mu bwenkanya abaddu bammwe, nga mumanyi nga nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.
2
Munyiikirirenga mu kusaba, nga mulindirira n'okwebaza;
3
era naffe mutusabire, Katonda okutuggulirawo oluggi olw'ekigambo, okutegeeza ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nnasibirwa;
4
ndyoke nkitegeeze bulungi nga bwe kiŋŋwanidde okwogera.
5
Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ebweru, nga mukozesa bulungi ekiseera kye mulina.
6
Ebigambo byammwe bibeerenga n'ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.
7
Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe, alibategeeza ebinfaako byonna.
8
Kyenva mmutuma gye muli olw'ensonga eyo, mulyoke mutegeere ebifa gyetuli era asanyuse emyoyo gyammwe;
9
wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omwagalwa, ow'ewammwe. Balibategeeza byonna ebifa eno.
10
Alisutaluuko, musibe munnange, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, gwe baabagambako bw'alijja gye muli, mumwanirizanga,
11
ne Yesu ayitibwa Yusito babalamusizza. Abo be b'omu bakomole bokka, bakozi bannange mu bwakabaka bwa Katonda, abanzizaamu essuubi.
12
Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna okubasabira mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala.
13
Kubanga mmuweera obujulirwa, nga bw'afuba ennyo ku lwammwe, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli.
14
Lukka, omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza.
15
Mulamuse ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe.
16
Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu mmwe, mulabe nga esomerwa n'ab'ekkanisa y'omu Lawodikiya; era nammwe musome eriva e Lawodikiya.
17
Era mugambe Alukipo nti, “Laba ng'otuukiriza okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe.”
18
Nze Pawulo, nze mpandiise okulamusa kuno n'omukono gwange. Mujjukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibeerenga nammwe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4