bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Colossians 2
Colossians 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Kubanga njagala mmwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nnina ku lwammwe n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonna abatalabanga maaso gange mu mubiri;
2
emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo,
3
mu ye obugagga bwonna obw'amagezi n'obw'okutegeera mmwe bukwekeddwa.
4
Kino nkibategeeza waleme kubaawo omuntu yenna abakyamya n'ebigambo ebisendasenda.
5
Kubanga newakubadde nga ssiriiyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi nammwe, nga nsanyuka era nga ndaba empisa zammwe ennungi, n'obunywevu obw'okukkiriza kwammwe mu Kristo.
6
Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye,
7
nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza.
8
Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, n'ebiyigirizibwa abantu mu buwangwa bwabwe bo, n'okugoberera emyoyo egy'ensi, okutali kugoberera Kristo.
9
Kubanga mu oyo mu mubiri mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'Obwakatonda,
10
era mwafuna obulamu obujjuvu mu ye, ye gwe mutwe ogw'obufuzi n'obuyinza bwonna,
11
era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutali bwa mikono, bwe mwayambula omubiri mu kukomolebwa kwa Kristo;
12
bwe mwaziikibwa awamu naye mu kubatizibwa, era mmwe mwazuukirira awamu naye olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu.
13
Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna;
14
era n'aggyawo endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatuwalirizanga okutuukiriza ebiragiro byayo, bwe yagikomerera ku musalaba;
15
kwe yayambulira ddala abafuzi n'ab'obuyinza, n'abawemuukiriza mu lwatu, n'abawangulira ddala.
16
N'olwekyo tewabangawo omuntu yenna abasalira musango mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti.
17
Kubanga ebyo kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye eky'omugaso ye Kristo.
18
Omuntu yenna tabanyagangako mpeera yammwe mu kwewombeeka kw'ayagala yekka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywerera mu ebyo bye yalaba, nga yeegulumiririza bwereere mu magezi ag'omubiri gwe,
19
so nga teyeekwase Mutwe, omuva omubiri gwonna, ennyingo n'ebinyweza nga biguleetera era nga bigugatta wamu, nga gukula n'okukuza kwa Katonda.
20
Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka emyoyo gyonna egy'ensi, lwaki ate mweyisa nga abakyafugibwa eby'ensi?
21
nti, “Tokwatangako, so tolegangako, so tokomangako,”
22
ebyo byonna biriggwaawo, era okwo tekuba kugoberera biragiro n'okuyigiriza kw'abantu?
23
Ebyo birabika ng'eby'amagezi mu ngeri ey'okusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono mu kufuga okwegomba kw'omubiri.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4