bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jonah 1
Jonah 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Awo Mukama n'ayogera ne Yona, mutabani wa Amittayi, ng'agamba nti,
2
“Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okirangirire nti okwonoona kwabwe kulinnye ne kutuuka mu maaso gange.”
3
Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama. N'aserengeta e Yopa, n'asangayo ekyombo ekyali kigenda e Talusiisi, n'asasula ebisale by'olugendo n'asaabala omwo agende e Talusiisi, ave mu maaso ga Mukama.
4
Mukama n'asindika omuyaga omungi ku nnyanja, ne gukunta nnyo ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka.
5
Entiisa ey'amaanyi n'ekwata abalunnyanja, buli muntu n'akoowoola katonda we amuyambe. Ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge ekya wansi eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo.
6
Awo omugoba w'ekyombo n'ajja waali n'amugamba nti, “Obadde ki ggwe eyeebase? Golokoka, osabe Katonda wo, oboolyawo anaatusaasira, ne tutazikirira.”
7
Awo abalunnyanja ne bateesa okukuba akalulu balabe oyo eyali avuddeko omutawaana ogwo. Awo ne bakuba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona.
8
Awo abalunnyanja ne bamugamba nti, “Kale tubuulire lwaki otuleetedde akabi kano? Okola mulimu ki? Ova wa? Ova mu nsi ki? Oli wa ggwanga ki?”
9
Yona n'abagamba nti, “Ndi Mwebbulaniya, nsinza Mukama, Katonda ow'omu ggulu, eyakola ennyanja n'olukalu.”
10
Awo abantu ne batya nnyo, ne bamugamba nti, “Kino kiki ky'okoze ggwe?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka ave mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng'ababuulidde.
11
Awo ne bamugamba nti, “Tunaakukola tutya ennyanja etuteekere? ” Kubanga ennyanja yali ng'egenda yeeyongera okufuukuuka ennyo.
12
N'abagamba nti, “Munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera; kubanga mmanyi nti omuyaga guno omungi gubakutte okubalanga nze.”
13
Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale baleme kusuula Yona mu nnyanja, naye ne batayinza kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi, n'ennyanja ne yeyongera okufuukuuka n'ebalemesa.
14
Kyebaava bakoowoola Mukama nga bagamba nti, “Tukwegayiridde, ayi Mukama, tukwegayiridde totuzikiriza olw'ekibi ky'omuntu ono; era totuvunaana kutta muntu ataliiko musango, kubanga ggwe, ayi Mukama, ggwe oyagadde kibe bwe kityo.”
15
Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja, awo omuyaga ogwali ku nnyanja ne gulekerawo.
16
Awo abantu ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama ne beeyama obweyamo.
17
Mukama n'ateekateeka ekyennyanja ekinene kimire Yona; Yona n'amala mu lubuto olw'ekyennyanja ennaku ssatu emisana n'ekiro.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4