bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jonah 2
Jonah 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we ng'ali mu lubuto olw'ekyennyanja.
2
N'agamba nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama N'anziramu; Nasinziira emagombe ne nkukoowoola, N'owulira eddoboozi lyange.
3
Kubanga wansuula mu buziba, wakati mu nnyanja, Amazzi ne ganneetooloola, Amayengo go ag'amaanyi ne gampita kungulu.
4
Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go. Ddala ndiddamu nate okulaba Yeekaalu yo entukuvu?’
5
Amazzi gansaanikira ne gaagala okunsaanyaawo, Obuziba bw'ennyanja bwanneetooloola, Omuddo ogw'omu nnyanja nga gunneezingiridde ku mutwe gwange.
6
Nnakka wansi ensozi we zisibuka, Mu nsi, enzigi zaayo gye ziba ensibe ennaku zonna. Naye ggwe, ayi Mukama, Katonda wange, onziggye mu bunnya nga ndi mulamu.
7
Bwe n'awulira ng'obulamu bunzigwamu ne njijukira Mukama, N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu Yeekaalu yo entukuvu.
8
Abo abassa omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu beefiiriza kusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
9
Naye nze nnaakuwa ssaddaaka yange nga bwe nkutendereza. Naasasula obweyamo bwange. Kubanga obulokozi buva eri Mukama.”
10
Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4