bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jonah 3
Jonah 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Awo Mukama n'ayogera ne Yona omulundi ogwokubiri, nti,
2
“Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okitegeeze obubaka bwe nakugamba.”
3
Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna.
4
Yona n'ayingira mu kibuga, n'atambula olugendo lwa lunaku lumu, n'alangirira nti, “Esigadde ennaku ana (40), Nineeve kizikirire.”
5
Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza obubaka bwa Katonda ne balangirira okusiiba, ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto.
6
Ebigambo bino ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, naava ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye, n'ayambala ebibukutu n'atuula mu vvu.
7
N'aweereza ekiragiro wonna mu Nineeve nga kigamba nti, “Kino kye kiragiro kya kabaka n'abakungu be: Tewaba muntu yenna, ensolo oba ggana n'ekisibo, ekikomba ku mmere wadde okunywa ku mazzi;
8
naye abantu bambale ebibukutu, beegayirire nnyo Katonda. Buli omu ave mu mpisa ze embi, n'ebikolwa bye ebibi.
9
Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye yatusalira n'atuggyako obusungu bwe obukambwe n'atatuzikiriza?”
10
Katonda n'alaba bye bakoze, nga baleseeyo empisa zaabwe embi, n'akyusa okusalawo kwe n'atabazikiriza.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4