bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Jonah 4
Jonah 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Naye Yona n'atasiima n'akatono n'asunguwala.
2
N'asaba Mukama n'agamba nti, “Ayi Mukama, ssaayogera bwe ntyo bwe nali nga nkyali mu nsi y'ewaffe nti ekyo kyennyini ky'olikola? Kyennava nnyanguwa okuddukira e Talusiisi, kubanga mmanyi ng'oli Katonda mulungi, ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era atayagala kuleeta bubi.
3
Kale nno, ayi Mukama, nkwegayiridde, ndeka nfe, kubanga kirungi nfe okusinga okuba omulamu.”
4
Mukama n'amuddamu nti, “Ggwe olowooza okoze bulungi okusunguwala?”
5
Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku ludda lwakyo olw'ebuvanjuba, ne yeekolera eyo akasiisira mu makoola, n'atuula mu kisiikirize kyako, n'alinda okulaba ebinaatuuka ku kibuga Nineeve.
6
Mukama Katonda n'ategeka ekiryo n'akimeza awali Yona kimusiikirize ku mutwe gwe, kimuwonye ennaku ze yali alabye. Awo Yona n'asanyuka nnyo olw'ekiryo.
7
Naye Katonda n'ategeka ekiwuka obudde bwe bwakya enkya, ne kiruma ekiryo ne kiwotoka.
8
Awo olwatuuka enjuba bwe yavaayo, Katonda n'asindika embuyaga ey'omu buvanjuba, ey'ebugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe, n'abulako katono okuzirika. Ne yeesabira afe, n'agamba nti, “Waakiri nfe okusinga okuba omulamu.”
9
Katonda n'agamba Yona nti, “Ggwe okoze bulungi okusunguwala ku lw'ekiryo?” Yona n'addamu nti, “Nkoze bulungi okusunguwala, era obusungu bwagala kunzita.”
10
Mukama n'amugamba nti, “Osaasidde ekiryo ky'otaakolera mulimu so ky'otaameza; ekyamerera mu kiro kimu, era ne kifa mu kiro ekimu.
11
Nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, omuli abaana abato abasoba mu mitwalo ekkumi n'ebiri (120,000), abatasobola kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo ku gwa kkono, era omuli n'ensolo ennyingi bwe zityo? ”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4