bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Philippians 1
Philippians 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, eri abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, wamu n'abalabirizi n'abaweereza,
2
ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3
Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,
4
buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu,
5
olw'okuba nga okuviira ddala ku lubereberye n'okutuusa kaakano muli wamu nange mu mulimu ogw'okubunya Enjiri.
6
Era nkakasiza ddala ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo.
7
Kirungi ddala nze okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundi mu mutima gwange, kubanga mwenna mugabana awamu nange mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwolerezanga Enjiri n'okuginywezanga.
8
Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, kubanga alaba nga bwe mbayaayaanira n'okwagala kwa Kristo Yesu.
9
Era kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongerere ddala, nga kulimu okutegeera n'okwawula kwonna,
10
mulyoke musiimenga ebisinga obulungi; mubeerenga abalongoofu era abataliiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku lwa Kristo;
11
nga mujjudde ebibala eby'obutuukirivu, ebiyita mu Yesu Kristo, olw'ekitiibwa n'okutendereza Katonda.
12
Naye njagala mmwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaako byongedde bwongezi kubunya bubunya njiri;
13
era kino kiretedde abasserikale abakuuma kabaka, wamu n'abalala bonna okutegeera nti nnasibibwa lwa Kristo,
14
n'ab'oluganda bangi okusibwa kwange kwongedde okubagumya, era beeyongedde okufuna obuvumu okubuulira ekigambo kya Katonda nga tebatya.
15
Abalala babuulira Kristo lwa buggya n'akuvuganya, naye abalala babuulira lwa bulungi.
16
Bano babuulira lwa kwagala, nga bamanyi nga nnateekebwawo lwa kuwolerezanga Enjiri;
17
naye bali babuulira Kristo lwa kwawula, si mu bwesimbu, nga balowooza nga banaayongera okundeetera ennaku mu busibe bwange.
18
Naye n'ekyo nsonga? Mu ngeri zonna, oba za bukuusa oba za mazima, Kristo abuulirwa, nze n'emw'ekyo nsanyuka busanyusi.
19
Ddala nteekwa okusanyuka, kubanga mmanyi nti olw'okusaba kwammwe, n'olw'obuyambi bw'Omwoyo wa Kristo, ndisumululwa.
20
Kino kye nduubirira era kye nsuubira nti ssirikwatibwa nsonyi mu kigambo kyonna, naye nja kuba muvumu nga bulijjo, Kristo, agulumizibwe mu mubiri gwange, oba mu bulamu oba mu kufa.
21
Kubanga nze mba mulamu lwa Kristo, ate ne bwe nfa ngobolola.
22
Naye oba ng'okuba omulamu mu mubiri, kye kibala eky'okufuba kwange, kale ssimanyi kye nneeroboza.
23
Naye nyigirizibwa eruuyi n'eruuyi, nga nneegomba okugenda okubeera ne Kristo, kubanga ekyo kye kisingako obulungi.
24
Naye okubeera mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe.
25
Kino nkikakasa kubanga ntegeeredde ddala nga nja kuba nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okukula, n'okusanyukira mu kukkiriza,
26
bwe ndikomawo nate gye muli, mulyoke mweyongere okwenyumiririza Kristo Yesu ku lwange.
27
Naye kyokka embeera z'obulamu bwammwe, zibeere nga bwe kigwanira Enjiri ya Kristo, bwe ndijja okubalabako oba nga ssiriiwo, ndyoke mpulire ebifa gye muli, nga munywedde mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okukkiriza okw'Enjiri n'emmeeme emu;
28
era nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonna, kabeere akabonero ddala gyebali ak'okuzikirira, naye eri mmwe ka bulokozi, obuva eri Katonda;
29
kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo ekisa, si kya kumukkiriza kwokka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe.
30
Muli mu lutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira nga nkyaluliko.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4