bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Philippians 3
Philippians 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Eky'enkomerero, ab'oluganda, musanyukirenga Mukama waffe. Okuddamu okubawandiikira ebyo bye nnabawandiikira edda tekunkooya nze, naye kirungi eri mmwe.
2
Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakola ebibi, mwekuumenga abekomola omubiri.
3
Kubanga ffe bakomole abatuufu, abasinza Katonda mu Mwoyo, era abeenyumiririza mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri.
4
Newakubadde nga nze nnyinza okuba n'ensonga okwesiga omubiri: omuntu omulala yenna bw'alowooza okwesiga omubiri, nze mmusinga:
5
nze nnakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka ndi Mufalisaayo;
6
mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa.
7
Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo.
8
Naye era n'ebintu byonna mbirowooza nga kufiirwa olw'omuwendo omungi ogusinga oguli mu kutegeera Kristo Yesu Mukama wange, ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera nga mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo,
9
era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina butuukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza:
10
ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe era n'okugabana ku bibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe;
11
era bwe kiba kiyinzika nfune okuzuukira mu bafu.
12
Si kugamba nti mmaze okukifuna oba nti mmaze okutuukirira, naye nfuba okukifuna, kubanga Kristo Yesu yanfuula owuwe.
13
Ab'oluganda, ssirowooza nga mmaze okukifuna, naye ekintu kimu kye nkola, kwe kwerabira ebyo ebiri emabega, nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso,
14
nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.
15
Kale ffe fenna abakuze mu mwoyo, tulowoozenga ekyo: naye oba nga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikulira,
16
naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.
17
Ab'oluganda, mukkirize okundabirako, era mugobererenga abo abatambula nga ffe be mulina nga ekyokulabirako.
18
Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo,
19
enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi.
20
Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo:
21
aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4