bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Philippians 4
Philippians 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Kale, ab'oluganda abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa.
2
Nneegayirira Ewodiya, era nneegayirira Suntuke, bakkiriziganye mu Mukama waffe.
3
Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde yamba abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw'enjiri nga tuli ne Kulementi, ne bakozi bannange abalala, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu.
4
Musanyukirenga mu Mukama waffe ennaku zonna, nate njogera nti Musanyukenga.
5
Abantu bonna balabenga obugumiikiriza bwammwe. Mukama waffe ali kumpi.
6
Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna nga musaba n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga, bye mwagala bitegeezebwenga Katonda.
7
N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaakuumanga emitima gyammwe n'amagezi gammwe mu Kristo Yesu.
8
Eky'enkomerero, ab'oluganda, oba nga waliwo eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.
9
Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe.
10
Nsanyuse nnyo mu Mukama waffe, kubanga kaakano oluvannyuma lw'ebbanga muzzeemu okulowooza ku byange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga.
11
Ssoogera kino olw'okubanga ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nnayiga okumalibwa.
12
Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu.
13
Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.
14
Naye mwakola bulungi okulumirirwa awamu nange mu bibonoobono byange.
15
Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga bwe nnava e Makedoni nga nnakatandika okubuulira Enjiri, tewali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka;
16
kubanga era ne bwe nali mu Ssessaloniika mwampeereza eby'okunyamba emirundi ebiri.
17
Ssoogera kino kubanga njagala kufuna kirabo, naye nnoonya ekibala ekyeyongera ku muwendo gwammwe.
18
Naye kaakano nfunye bingi okusinga bye neetaaga, olw'ebyo Epafulodito byeyaleeta ebyava gye muli, biringa evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda.
19
Era Katonda wange anaatuukirizanga buli kye mwetaaga, ng'obugagga bwe obungi obw'ekitiibwa bwe buli obuli mu Kristo Yesu.
20
Era Katonda waffe era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
21
Mulamuse buli mutukuvu mu Kristo Yesu. Ab'oluganda abali nange babalamusizza.
22
Abatukuvu bonna babalamusizza, naye okusinga ab'omu nnyumba ya Kayisaali.
23
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4