bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Philippians 2
Philippians 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Kale oba nga waliwo okubazamu amaanyi kwonna mu Kristo, oba okusikiriza kwonna okw'okwagala, oba okussa ekimu kwonna mu Mwoyo, oba okwagala okw'engeri yonna n'okusaasira,
2
mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu, nga mulowooza bumu.
3
Temukolanga kintu kyonna lwa kweyagaliza mwekka, oba mu bukuusa, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.
4
Buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye buli omu ng'afaayo ne ku by'abalala.
5
Mmwe mubeemu okulowooza okwo, okwali mu Kristo Yesu,
6
ye newakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda, teyeerowooza kwenkanankana na Katonda,
7
naye yeeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'azaalibwa ng'omuntu.
8
Era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.
9
Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna;
10
nti olw'erinnya lya Yesu, buli vviivi lifukaamire, ery'abo abali mu ggulu n'abali ku nsi n'abali wansi w'ensi,
11
era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
12
Kale, abaagalwa bange, nga bwe mubadde abawulize bulijjo nga ndi nammwe, naye kaakano nga ssiriiwo, mweyongere okuba abawulize. Mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana;
13
kubanga Katonda akolera mu mmwe, yabaagazisa era n'abasobozesa n'okukola, by'asiima.
14
Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka;
15
mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettaala mu nsi,
16
ngamunywezeza ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere, so ssaafubira busa.
17
Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nammwe mwenna:
18
era nammwe bwe mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange.
19
Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli.
20
Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebyammwe mu mazima.
21
Kubanga abo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo.
22
Naye Timoseewo mumanyi nga bw'asaanira, kubanga yaweerezanga wamu nange olw'Enjiri, ng'omwana eri kitaawe.
23
Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga ntegedde embeera nga bwe n'ebeera gye ndi,
24
naye nange nsuubira mu Mukama waffe nti ndijja mangu.
25
Era ndabye nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga;
26
kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nnyo, kubanga mwawulira nga yalwala:
27
Ddala okulwala yalwala era yali kumpi n'okufa, naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku n'eteenneeyongera.
28
Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyoke musanyuke, nange nkendeeze ku kunakuwala kwange.
29
Kale mu mwanirize mu Mukama waffe n'essanyu lingi, era abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa,
30
kubanga yabulako katono okufa olw'omulimu gwa Kristo, bwe yawaayo obulamu bwe ng'akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4