bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
2 Chronicles 15
2 Chronicles 15
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
1
Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi:
2
n'afuluma okusisinkana Asa n'amugamba nti Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.
3
Era ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow'amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina mateeka:
4
naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba.
5
Ne mu biro ebyo nga tewali mirembe eri oyo eyafulumanga newakubadde eri oyo eyayingiranga, naye okweraliikirira kungi ne kuba ku bonna abaatuula mu nsi ezo.
6
Ne bamenyekamenyeka, eggwanga nga lirumba ggwanga linnaalyo, n'ekibuga nga kirumba kibuga kinnaakyo: kubanga Katonda yabeeraliikiriza ng'abalabya ennaku zonna.
7
Naye mubenga n'amaanyi, so n'emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu awammwe guliweebwa empeera.
8
Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yalagula, n'aguma omwoyo n'aggyawo eby'emizizo byonna mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini ne mu bibuga bye yaggya ku nsi ey'ensozi eya Efulayimu; n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g'ekisasi kya Mukama.
9
N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamini n'abo abaabeeranga nabo abaava mu Efulayimu ne Manase ne mu Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.
10
Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka, ogw'ekkumi n'etaano ogw'okufuga kwa Asa.
11
Ne baweerayo ku lunaku olwo eri Mukama nga baggya ku munyago gwe baaleeta ente lusanvu n'endiga kasanvu.
12
Ne bayingira mu ndagaano okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna;
13
era buli atakkirizenga kunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi.
14
Ne balayirira Mukama n'eddoboozi ddene n'okwogerera waggulu n'amakondeere n'eŋŋombe.
15
Yuda yenna ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna ne bamunoonya n'okwagala kwabwe kwonna; ne bamulaba: Mukama n'abawa okuwummula enjuyi zonna.
16
Era ne Maaka nnyina Asa kabaka n'amugoba mu bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akifuula nfuufu n'akyokera ku kagga Kidulooni.
17
Naye ebifo ebigulumivu ebyaggibwawo mu Isiraeri: naye mutima gwa Asa gwatuukirira ennaku ze zonna.
18
N'ayingiza mu nnyumba ya Katonda ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu.
19
Ne watabanga ntalo nate okutuusa omwaka ogw'asatu mu etaano ogwa Asa.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36