bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
2 Chronicles 8
2 Chronicles 8
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
1
Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ye,
2
ebibuga Kulamu bye yawa Sulemaani, Sulemaani n'abizimba n’atuuza omwo abaana ba Isiraeri.
3
Awo Sulemaani n'agenda Kamasuzoba n'akimenya.
4
n'azimba Tadumoli mu ddungu n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu yazimba mu Kamasi.
5
Era, n’azimba ne Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, ebibuga ebiriko enkomera ne bbugwe n’enzigi n'ebisiba;
6
ne Baalasi n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina, n'ebibuga byonna eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba olw'okwesanyusa kwe mu Yerusaalemi ne mu, Lebanooni ne mu nsi yonna ey'amatwale ge.
7
Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti n'Abamoli n'Abaperini n'Abakiivi n'Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri;
8
ku baana baabwe abaasigalawo oluvannyuma lwabwe mu nsi, abaana ba Isiraeri be bataazikiriza, ku abo Sulemaani kwe yasoloozanga (abaddu) ne leero.
9
Naye ku baana ba Isiraeri Sulemaani teyafuulangako baddu olw'omulimu gwe; naye ne baba basajja balwanyi era abakulu b'abaami be era abafuga amagaali ge n'abasajja be abeebagala embalaasi.
10
Era bano be baali abaami abakulu aba kabaka Sulemaani, ebikumi bibiri mu ataano abaafuganga abantu.
11
Sulemaani n'ayambusa muwala wa Falaawo ng'amuggya mu kibuga kya Dawudi n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira: kubanga yayogera nti Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumha ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ebifo bitukuvu essanduuko ya Mukama gye yatuuka.
12
Awo Sulemaani n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso g'ekisasi,
13
ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, ng'awaayo ng'ekiragiro kya Musa bwe kyali ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaalagirwa, emirundi esatu buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ne ku mbaga eya ssabbiiti ne ku mbaga ey'ensiisira.
14
N'agaba empalo za bakabona olw'okuweereza kwabwe ng'ekiragiro kya Dawudi kitaawe bwe kyali, n'awa Abaleevi ebyo bye baalagirwa, okutenderezanga n'okuweereza mu maaso ga bakabona, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali: era n'abaggazi ng'empalo zaabwe bwe zaali ku buli mulyango: kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
15
Ne batava mu kiragiro kya kabaka kye yalagira bakabona n'Abaleevi olw'ekigambo kyonna oba olw'ebintu ebyaterekebwa.
16
Awo omulimu gwonna ogwa Sulemaani ne gutegekerwa olunaku olw'okussaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama n'okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyunba ya Mukama n'etuusibwa ddala.
17
Awo Sulemaani n'agenda Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku ttale y'ennyanja mu nsi ya Edomu.
18
Kulamu n'amuweereza mu mikono gy'abaddu be ebyombo n'abaddu abaamanya ennyanja; ne bajja wamu n'abaddu ba Sulemaani e Ofiri, ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu ataano, ne bazireeta eri kabaka Sulemaani.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36