bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
2 Chronicles 4
2 Chronicles 4
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
1
Era yakola n'ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi.
2
Era n'akola n'ennyanja ensaanuuse ey'emikono kkumi okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nneekulungirivu n'obugulumivu bwali emikono etaano; n'omugwa ogw'emikono amakumi asatu ne gugyetooloola.
3
Era wansi waayo waaliwo ekifaananyi ky'ente, ekigyetooloolera emikono kkumi, nga kigyetooloola ennyanja enjuyi zonna. Ente zaali embu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa.
4
Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira ebugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira ebuvanjuba: n'ennyanja ng'eteekeddwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda.
5
N'obugazi bwayo luta; n'omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: ensuwa enkumi ssatu ezaayingiramu ne zigyamu.
6
Era n'akola eby'okwolezaamu kkumi, n'ateeka ebitaano ku mukono ogwa ddyo, n'ebitaano ku gwa kkono, okubyolezangamu; ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye ennyanja yali ya bakabona okunaabirangamu.
7
N'akola ebikondo kkumi bya zaabu ng'ekiragiro kyabyo bwe kyali; n'abiteeka mu yeekaalu, ku mukono ogwa ddyo bitaano, ne ku gwa kkono bitaano.
8
Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu yeekaalu, ku luuyi olwa ddyo ttaano, ne ku lwa kkono ttaano. N'akola ebibya kikumi bya zaabu.
9
Era nate n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, n'enzigi z'oluggya, enzigi zaazo n'azibikkako ebikomo.
10
N'ateeka ennyanja ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo ebuvanjuba, okutunuulira obukiika obwa ddyo.
11
Kulamu n'akola entamu n'ebisena n'ebibya. Awo Kulamu n'amala okukola omulimu gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Katonda:
12
empagi zombi n'embuto, n'emitwe gyombi egyali ku ntikko z'empagi; n'ebitimba byombi eby'okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi;
13
n'amakomamawanga ebikumi bina ag'oku bitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku mpagi.
14
Era n'akola n'entebe, n'ebyolezebwamu n'abikola ku ntebe:
15
ennyanja emu n'ente kkumi na bbiri wansi waayo.
16
Era n'entamu n'ebisena n'amakato agakwasa ennyama n'ebintu byonna ebyako Kulamu kitaawe n'abikolera kabaka Sulemaani olw'ennyumba ya Mukama, bya bikomo bizigule.
17
Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda.
18
Bw'atyo Sulemaani bwe yakola ebintu byonna bingi nnyo nnyini: kubanga ebikomo obuzito bwabyo tebwategeerekeka.
19
Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga;
20
n'ebikondo n'ettabaaza zaabyo, zaakirenga mu maaso g'awayimibwa okwogera ng'ekiragiro bwe kyali, bya zaabu nnungi nnongoofu;
21
n'ebimuli ne ttabaaza ne makaasi, bya zaabu, zaabu ntuukirivu;
22
n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'emmumbiro, bya zaabu nnongoofu: n'omulyango gw'ennyumba, enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo ekitukuvu ennyo n'enzigi z'ennyumba, ye yeekaalu, zaali za zaabu.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36