bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
2 Chronicles 16
2 Chronicles 16
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
1
Awo mu mwaka ogw'asatu mu mukaaga ogw'okufuga kwa Asa, Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.
2
Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atumira Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
3
Waliwo endagaano eri nze naawe, nga bwe yali eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ffeeza n'ezaabu: genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.
4
Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri; ne bakuba Iyoni ne Ddaani ne Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu ebya Nafutaali.
5
Awo lolwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'akomya omulimu gwe.
6
Awo kabaka Asa n'amenya Yuda yenna; ne baggyawo amayinja ag'e Laama n'emiti gyakyo. Baasa bye yazimbya; n'abizimbya Geba ne Mizupa.
7
Era mu biro ebyo Kanani omulabi n'ajja eri Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w'e Busuuli kye livudde liwona mu mukono gwo.
8
Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene kitalo, nga baalina amagaali n'abeebagala embalaasi bangi nnyo nnyini? naye kubanga weesiga Mukama, yabagabula mu mukono gwo.
9
Kubanga amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw'ali ow'amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy'ali. Mu kino okoze eky'obusirusiru; olw'ekyo okuva leero ojja kubanga n'entalo.
10
Awo Asa n'alyoka asunguwalira omulabi, n'amuteeka mu nju ey'ekkomera; kubanga yali amuliko ekiruyi olw'ekigambo ekyo. Asa n'ajooga abamu ku bantu mu biro ebyo.
11
Era, laba, ebikolwa bya Asa ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
12
Ne mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogw'okufuga kwe Asa n'alwala ebigere; endwadde ye n'enyiikira nnyo: naye bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo.
13
Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'afiira mu mwaka ogw'ana mu gumu ogw'okufuga kwe.
14
Ne bamuziika mu ntaana ze ye ze yeebajjira mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyajjula eby'akaloosa ebiwoomerevu n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa: ne bamunyookereza bingi nnyo nnyini.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36