bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Hosea 11
Hosea 11
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
1
Isiraeri bwe yali omwana omuto, namwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri.
2
Nga bwe beeyongera okubayita, bwe batyo bwe beeyongera okubavaako: baawangayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.
3
Era naye nayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange; naye tebaamanya nga nze nabawonya.
4
Nabawalula n'emigwa egy'omuntu, n'ebisiba eby'okwagala; era nabanga gye bali ng'abo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, ne nteeka emmere mu maaso gaabwe.
5
Talidda mu nsi y'e Misiri; naye Omwasuli ye aliba kabaka we, kubanga baagaana okudda.
6
N'ekitala kirigwa ku bibuga bye, era kirirya ebisiba bye ne kimalawo olw'okuteesa kwabwe bo.
7
Era abantu bange bamaliridde okudda ennyuma okunvaako: newakubadde nga babayita okudda eri oyo ali waggulu, tewali n'omu akkiriza okumugulumiza.
8
Naakuwaayo ntya, Efulayimu? naakugabula ntya, Isiraeri? naakufuula ntya nga Aduma? naakussaawo ntya nga Zeboyimu? omutima gwange gukyuse munda yange, okusaasira kwange kwakidde wamu.
9
Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siridda kuzikiriza Efulayimu: kubanga nze Katonda so siri muntu; Omutukuvu ali wakati wo: so siriyingira mu kibuga.
10
Balitambula okugoberera Mukama, naye aliwuluguma ng'empologoma: kubanga aliwuluguma, n'abaana abato balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11
Balijja nga bakankana ng'ennyonyi eva mu Misiri, era ng'ejjiba eriva mu nsi y'e Bwasuli: era ndibatuuza mu nnyumba zaabwe, bw'ayogera Mukama.
12
Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa: naye Yuda akyafuga awali Katonda, era mwesigwa awali Omutukuvu.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14