bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Hosea 6
Hosea 6
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
1
Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga.
2
Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw'okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge.
3
Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng'enkya: era alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.
4
Ai Efulayimu, naakukola ntya? ai Yuda, naakukola ntya? kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky'enkya era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali.
5
Kyennavanga mbatemya bannabbi; nnabassanga ebigambo eby'omu kamwa kange: n'emisango gyo giriŋŋanga omusana ogufuluma.
6
Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka; n'okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7
Naye bo nga Adamu basobezza endagaano: eyo bankuusizza.
8
Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi.
9
Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe balindirira omusajja, ekibiina ekya bakabona bwe battira bwe batyo mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obukaba.
10
Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekivve: obwenzi bulabikidde eyo mu Efulayimu, Isiraeri ayonoonese.
11
Era naawe, ai Yuda, ebikungulwa byakuteekerwawo, bwe ndikomyawo obusibe obw'abantu bange.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14