bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Hosea 9
Hosea 9
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 10 →
1
Tosanyuka, ai Isiraeri, n'essanyu ng'amawanga; kubanga ogenze ng'oyenda okuva ku Katonda wo, weegomba empeera ku buli gguuliro.
2
Egguuliro n'essogolero tebiribaliisa, n'omwenge omusu gulimuggwaako.
3
Tebalibeera mu nsi ya Mukama; naye Efulayimu aliddayo mu Misiri, era baliriira mu Bwasuli emmere eteri nnongoofu.
4
Tebalifuka ebiweebwayo eby'omwenge eri Mukama, so talibasanyukira: ssaddaaka zaabwe ziriba gye bali ng'emmere y'abakungubazi; bonna abanaagiryangako baliba boonoonese: kubanga emmere yaabwe eriba ya kukkutibwa bukkutibwa; teriyingira mu nnyumba ya Mukama.
5
Mulikola ki ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, ne ku lunaku olw'embaga ya Mukama?
6
Kubanga, laba, bagenze okuva awali okuzikirira, era naye Misiri alibakuŋŋaanya, Menfisi alibaziika: ebintu byabwe ebya ffeeza ebisanyusa emyennyango giribyemala: amaggwa galiba mu weema zaabwe.
7
Ennaku ez'okubonererezaamu zituuse, ennaku ez'okusasuliramu zituuse; Isiraeri alikimanya: nnabbi musirusiru, omusajja alina omwoyo alaluse, olw'olufulube lw'obutali butuukirivu bwo, era kubanga obulabe bungi.
8
Efulayimu yabanga mukuumi eri Katonda wange: nnabbi, ekyambika eky'omutezi w'ennyonyi kiri mu makubo ge gonna, n'obulabe mu nnyumba ya Katonda we.
9
Beeyonoonye nnyo nnyini nga mu nnaku ez'e Gibeya: alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, alibabonereza olw'ebibi byabwe.
10
Nasanga Isiraeri ng'ezabbibu mu ddungu; nalaba bajjajjammwe ng'esooka okwengera ku mutiini mu mwaka gwagwo ogw'olubereberye: naye ne bajja e Baalipyoli, ne beeyawulira ekyo ekikwasa ensonyi, ne bafuuka ab'emizizo ng'ekyo kye bayagala.
11
Efulayimu ekitiibwa kyabwe kiribuuka; kirigenda ng'ennyonyi: tewaliba kuzaala newakubadde ali olubuto newakubadde eggwako.
12
Newakubadde nga balera abaana baabwe; era naye ndibafiisiza, ne wataba muntu asigaddewo: weewaawo, era ziribasanga bwe ndibavaako.
13
Efulayimu asimbibwa mu kifo eky'okwesiima, nga bwe nnalaba Ttuulo: naye Efulayimu alifulumya abaana be eri omussi.
14
Bawe, ai Mukama: oliwa ki? bawe olubuto olutaasa n'amabeere amakalu.
15
Obubi bwabwe bwonna buli mu Girugaali; kubanga eyo gye nnabakyayira: olw'obubi obw'ebikolwa byabwe ndibagoba mu nnyumba yange: siribaagala nate; abakungu baabwe bonna bajeemu.
16
Efulayimu afumitiddwa, ekikolo kyabwe kikaze, tebalibala bibala: weewaawo newakubadde nga bazaala, era naye nditta ekibala eky'olubuto lwabwe ekyagalwa.
17
Katonda wange alibasuula kubanga tebaamuwulira: era baliba mmomboze mu mawanga.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14