bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
/
Hosea 7
Hosea 7
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
1
Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'obubi bwa Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba: n'omubbi ayingira munda, n'ekibiina eky'abatemu banyagira e bweru.
2
So tebalowooza mu mitima gyabwe nga nze njijukira obubi bwabwe bwonna: kaakano ebikolwa byabwe bo bibazingizizza; biri mu maaso gange.
3
Basanyusa kabaka n'obubi bwabwe, n'abakungu n'eby'obulimba byabwe.
4
Bonna benzi; baliŋŋanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekera awo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka.
5
Ku lunaku lwa kabaka waffe abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge: yagolola omukono gwe wamu n'abanyoomi.
6
Kubanga bategese omutima gwabwe ng'akabiga, nga bateega: obusungu bwabwe bwebaka ne bukeesa obudde; enkya bwaka ng'omuliro ogwaka.
7
Bonna babugumye ng'akabiga, ne balya abalamuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde: tewali ku bo ankaabira.
8
Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu mugaati ogutakyusibwa.
9
Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi: weewaawo, atobese envi, so tamanyi.
10
mu maaso ge: era naye tebaddanga eri Mukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo.
11
Era Efulayimu aliŋŋanga ejjiba essirusiru eritalina magezi: bakaabira Misiri, bagenda eri Obwasuli.
12
Bwe baligenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga: ndibakangavvula ng'ekkuŋŋaaniro lyabwe bwe baawuliranga.
13
Zibasanze kubanga bawabye okunvaako; okuzikirira kubatuukeko! kubanga bansobezza: newakubadde nga njagala okubanunula, era naye banjogeddeko eby'obulimba.
14
So tebankaabidde n'omutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe: bakuŋŋaanira eŋŋaano n'omwenge, banjeemera.
15
Newakubadde nga nayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi.
16
Bakomawo naye si eri oyo ali waggulu; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'okulaluka kw'olulimi lwabwe: kuno kwe kuliba okusekererwa kwabwe mu nsi y'e Misiri.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14