bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 John 1
1 John 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Tubabuulira ku Kigambo ow'obulamu, eyaliwo okuviira ddala olubereberye. Twawulira by'ayogera, twamulaba n'amaaso gaffe, twamutunuulira, era twamukwatako n'engalo zaffe.
2
Obulamu obwo bwe bwalagibwa, twabulaba. Kale tubwogerako, ne tubategeeza mmwe eby'obulamu obwo obutaggwaawo, obwali awali Kitaffe, era obwatulagibwa.
3
Kye twalaba, era kye twawulira, kye tubategeeza, nammwe mulyoke mutwegatteko mu kussa ekimu ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo.
4
Era bino tubiwandiika, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
5
Bino bye bigambo bye, bye twawulira era bye tubategeeza mmwe nti Katonda kye kitangaala, era mu ye temuli kizikiza n'akatono.
6
Bwe tugamba nti tussa kimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba, era tuba tetukolera ku mazima.
7
Naye bwe tutambulira mu kitangaala, nga naye bw'ali mu kitangaala, tussa kimu ffenna, era omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako buli kibi.
8
Bwe tugamba nti tetulina kibi, tuba twerimba, era amazima nga tegali mu ffe.
9
Naye bwe twatula ebibi byaffe, Katonda omwesigwa era omutuukirivu abitusonyiwa, era atunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.
10
Bwe tugamba nti tetukolanga kibi, Katonda tumufuula mulimba, era nga n'ekigambo kye tekiri mu ffe.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
Recommended Reading
Commentary
1 John Commentaries
→
Devotional
1 John Devotional Guide
→
Get This Bible
LB03 Study Bible
→