bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 John 3
1 John 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Mulabe Kitaffe bwe yatwagala ne tuyitibwa abaana ba Katonda, era ddala bwe tuli. Ensi kyeva tetumanya, kubanga naye teyamumanya.
2
Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda. Kye tuliba tekinnamanyika, kyokka tumanyi nti bw'alirabika, tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw'ali.
3
Era buli muntu asuubira bw'atyo mu Kristo, yeetukuza nga Kristo bw'ali omutukuvu.
4
Buli akola ekibi, aba mujeemu, kubanga ekibi bwe bujeemu.
5
Mumanyi nga Kristo yalabika, alyoke aggyewo ebibi, era nga mu ye temuli kibi.
6
Buli muntu abeera mu ye, takola kibi. Buli akola ekibi, oyo talabanga era tamanyanga Kristo.
7
Baana bange, waleme kubaawo ababuzaabuza. Akola eby'obutuukirivu, mutuukirivu nga Kristo bw'ali omutuukirivu.
8
Akola ekibi, oyo wa Sitaani, kubanga okuviira ddala olubereberye Sitaani mwonoonyi. Omwana wa Katonda kyeyava alabika azikirize ebikolwa bya Sitaani.
9
Buli muntu eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga obulamu bwa Katonda buba buli mu ye. Tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
10
Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Sitaani kwe balabikira: buli muntu atakola bya butuukirivu, wadde atayagala muntu munne, si wa Katonda.
11
Kino kye kigambo kye mwawulira okuva olubereberye, nti tuteekwa okwagalananga.
12
Tuteekwa obutaba nga Kayini eyali ow'Omubi, n'atemula muganda we. Era yamutemulira ki? Yamutemula, kubanga ebikolwa ebibye byali bibi, ebya muganda we nga birungi.
13
Abooluganda, temwewuunyanga ensi bw'ebakyawanga.
14
Ffe tumanyi nga twava mu kufa, ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala bantu bannaffe. Atalina kwagala aba akyali mu kufa.
15
Buli muntu akyawa muntu munne, mutemu. Ate mumanyi nga tewali mutemu alina bulamu obutaggwaawo.
16
Ku kino kwe tumanyira okwagala: Kristo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. Naffe tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe ku lw'abantu bannaffe.
17
Kale omuntu alina ebyobugagga obw'oku nsi n'alaba muntu munne ng'ali mu bwetaavu, n'atamuyamba, ayinza atya okugamba nti ayagala Katonda?
18
Baana bange, tuleme okwagalanga mu bigambo ne mu lulimi mwokka, naye tubenga n'okwagala kwennyini okulabikira mu bikolwa.
19
Ku kino kwe tunaamanyiranga nti tuli ba mazima, n'emitima gyaffe ne gitutereera mu maaso ga Katonda,
20
kubanga emitima gyaffe ne bwe gitulumiriza, tuba tumanyi nti Katonda mukulu okusinga emitima gyaffe, era amanyi byonna.
21
Abaagalwa, emitima gyaffe bwe gitatulumiriza, tuba bagumu mu maaso ga Katonda,
22
era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye, era tukola ebimusanyusa.
23
Era kino kye kiragiro kye nti tukkirize Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga nga Kristo bwe yatulagira.
24
Bonna abakwata ebiragiro bya Katonda babeera mu Katonda, ne Katonda n'abeera mu bo. Era kwe tumanyira ng'ali mu ffe, ye Mwoyo gwe yatuwa.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5