bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 John 5
1 John 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Buli akkiriza nga Yesu ye Kristo, aba mwana wa Katonda, era buli ayagala omuzadde, ayagala n'omwana w'omuzadde oyo.
2
Bwe twagala Katonda, era ne tukwata ebiragiro bye, kwe tumanyira nti twagala abaana ba Katonda.
3
Okwagala Katonda, kwe kukwata ebiragiro bye; ate ng'ebiragiro bye si bizito,
4
kubanga buli eyazaalibwa Katonda, awangula ensi, era amaanyi agawangula ensi, kwe kukkiriza kwaffe.
5
Awangula ensi ye ani, wabula oyo akkiriza nga Yesu ye Mwana wa Katonda?
6
Yesu Kristo oyo ye yajjira mu mazzi ne mu musaayi. Si mu mazzi gokka, wabula mu mazzi ne mu musaayi.
7
Era Mwoyo Mutuukirivu ye akakasa nti kino kya mazima, kubanga Mwoyo Mutuukirivu ge mazima.
8
Waliwo ebikakasa bisatu: Mwoyo Mutuukirivu, amazzi, n'omusaayi, era ebisatu ebyo bissa kimu.
9
Oba nga tukkiriza abantu bye bakakasa, ebyo Katonda by'akakasa bye bisinga obukulu. Katonda by'akakasa bifa ku Mwana we.
10
Akkiriza Omwana wa Katonda, aba n'okukakasa okwo. Atakkiriza, afuula Katonda okuba omulimba, kubanga aba takkiriza ebyo Katonda by'akakasa ku Mwana we.
11
Katonda ky'akakasa kye kino nti yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we.
12
Buli alina Omwana wa Katonda, alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda, talina bulamu.
13
Mmwe abakkiriza Omwana wa Katonda, ebyo mbibawandiikidde, mulyoke mumanye nga mulina obulamu obutaggwaawo.
14
Tulina obwesige mu ye, kubanga bwe tubaako kye tumusaba, ne tukimusaba nga tukkaanya n'ebyo Ye by'ayagala, atuwulira.
15
Era bwe tumanya nti bwe tumusaba atuwulira, tumanyi nga ebyo bye tumusaba tubifuna.
16
Omuntu bw'alabanga muntu munne ng'akola ekibi ekitaamuleetere kufa, asabenga Katonda awe munne oyo obulamu. Kino kikwata ku abo abakola ekibi ekitaleeta kufa. Waliwo ekibi ekireeta okufa. Ekyo si kye njogerako bwe ŋŋamba okusabanga Katonda.
17
Buli kitali kya butuukirivu, kibi. Naye waliwo ekibi ekitaleeta kufa.
18
Tumanyi nga buli muntu eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga Omwana wa Katonda amukuuma, Omubi n'atamukola kabi.
19
Tumanyi nga tuli ba Katonda, era ng'ensi yonna eri mu buyinza bwa Mubi.
20
Era tumanyi ng'Omwana wa Katonda yajja n'atuwa okutegeera, tumanye Katonda ow'amazima; era tuli mu Oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, era bwe bulamu obutaggwaawo.
21
Baana bange, mwewalenga okusinza ebitali Katonda.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5