bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 John 4
1 John 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mugezenga emyoyo, mulabe oba nga giva eri Katonda, kubanga abalanzi ab'obulimba bangi basaasaanye ne bajja mu nsi.
2
Omwoyo ogwa Katonda mugumanyiranga ku kino: ayatula nti Yesu Kristo yajja ng'alina omubiri, oyo alina omwoyo oguvudde eri Katonda.
3
Buli muntu agaana okwatula ekyo ku Yesu Kristo, talina mwoyo guvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo. Mwawulira nti gujja, era kaakano gwatuuka dda mu nsi.
4
Baana bange, mmwe muli ba Katonda era mwawangula abalanzi ab'obulimba, kubanga oyo ali mu mmwe asinga nnyo oyo ali mu nsi.
5
Bo ba nsi, kyebava boogera eby'ensi, ensi n'ebawuliriza.
6
Ffe tuli ba Katonda. Amanyi Katonda, atuwuliriza. Atali wa Katonda, tatuwuliriza. Ku ekyo kwe tumanyira omwoyo ogw'amazima n'omwoyo ogw'obukyamu.
7
Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli muntu alina okwagala, yazaalibwa Katonda, era amanyi Katonda.
8
Atalina kwagala, aba tamanyi Katonda, kubanga Katonda kwe kwagala.
9
Ku kino Katonda kwe yalagira bw'atwagala: yatuma mu nsi Omwana we omu yekka, tulyoke tube balamu ku bw'oyo.
10
Mu kino mwe muli okwagala: si kugamba nti ffe twayagala Katonda, wabula ye yatwagala, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe.
11
Abaagalwa, nga Katonda bwe yatwagala, naffe tuteekwa okwagalana.
12
Tewali yali alabye Katonda; kyokka bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, era okwagala kwe kuba kutuukiridde mu ffe.
13
Tumanyi nga tuli mu Katonda, era nga naye ali mu ffe, kubanga yatuwa ku Mwoyo we.
14
Era ffe twalaba era tutegeeza abalala nti Kitaffe yatuwa Omwana we okuba Omulokozi w'ensi.
15
Buli ayatula nti Yesu ye Mwana wa Katonda, Katonda abeera mu ye, naye abeera mu Katonda.
16
Era ffe tumanyi era tukkiriza okwagala Katonda kw'atwagalamu. Katonda kwe kwagala, era oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.
17
Mu kino okwagala kuba kutuukiridde mu ffe, tulyoke tube bagumu ku lunaku olw'okusalirwako omusango, kubanga ye nga bw'ali, naffe bwe tuli mu nsi muno.
18
Mu kwagala temuli kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya. Okutya kweraliikirira ekibonerezo, era oyo atya aba tannatuukirira mu kwagala.
19
Ffe tulina okwagala kubanga Katonda ye yasooka okutwagala.
20
Omuntu bw'agamba nti: “Njagala Katonda”, ate n'akyawa muntu munne, aba mulimba, kubanga atayagala muntu munne gwe yali alabyeko, tayinza kwagala Katonda gw'atalabangako.
21
Era tulina ekiragiro kino kye yatuwa nti: ayagala Katonda, ayagalenga ne muntu munne.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5