bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 John 2
1 John 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Baana bange, bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye bwe wabaawo akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo omutuukirivu.
2
Kristo oyo gwe mutango ogutuggyisaako ebibi byaffe; si byaffe byokka, naye n'eby'abantu bonna.
3
Bwe tukwata ebiragiro bya Katonda, kwe tutegeerera nga tumumanyi.
4
Oyo agamba nti: “Mmumanyi”, ate n'ajeemera ebiragiro bye, aba mulimba, era taliimu mazima.
5
Naye buli atuukiriza ekigambo kya Katonda, ddala y'aba n'okwagala Katonda okutuukiridde. Ku kino kwe tumanyira nga tuli mu ye.
6
Buli agamba nti ali mu Katonda, ateekwa okuyisanga nga Kristo bwe yayisa.
7
Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, wabula kye kiragiro eky'edda, kye mwafuna okuviira ddala olubereberye. Ekiragiro eky'edda ekyo, kye kigambo kye mwawulira.
8
Naye era ekiragiro kye mbawandiikira kiggya, era amazima gaakyo galabikira mu Kristo ne mu mmwe, kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo, era ekitangaala kyennyini kaakano kyaka.
9
Oyo agamba nti ali mu kitangaala, ate n'akyawa muntu munne, akyali mu kizikiza.
10
Oyo ayagala muntu munne, aba mu kitangaala era mu kyo teyeesittala.
11
Kyokka akyawa muntu munne, ali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw'atambulira, nga tamanyi gy'alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
12
Baana bange, mbawandiikira kubanga ebibi byammwe bibasonyiyiddwa olwa Yesu.
13
Mbawandiikira mmwe abakulu, kubanga mumanyi oyo eyabaawo okuviira ddala olubereberye. Mbawandiikira mmwe abavubuka, kubanga muwangudde Omubi.
14
Mbawandiikidde mmwe abaana abato, kubanga mumanyi Kitaffe. Mbawandiikidde mmwe abakulu, kubanga mumanyi oyo eyabaawo okuviira ddala olubereberye. Mbawandiikidde mmwe abavubuka, kubanga muli ba maanyi, n'ekigambo kya Katonda kibalimu, era muwangudde Omubi.
15
Temwagalanga nsi, wadde ebintu ebigirimu. Oyo ayagala ensi, tabaamu kwagala Kitaffe,
16
kubanga buli ekiri mu nsi–okwegomba okw'omubiri, n'okwegomba okw'amaaso, n'okwegulumiza okw'obulamu buno–ebyo tebiva eri Kitaffe, naye biva mu nsi.
17
Ensi eggwaawo n'okwegomba kwayo, naye akola Katonda by'ayagala, abeerawo emirembe n'emirembe.
18
Baana bange, ekiseera eky'enkomerero kituuse. Era nga bwe mwawulira nti omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi. Ku kino kwe tumanyira nga ekiseera eky'enkomerero kituuse.
19
Abantu abo baava mu ffe, naye tebaali baffe. Singa baali baffe, bandibadde basigala naffe. Naye baatuvaamu, balyoke balabikire ddala nti tewali n'omu ku bo eyali owaffe.
20
Naye mmwe Kristo yabagabira Mwoyo Mutuukirivu, era mwenna mumanyi amazima.
21
Mbawandiikidde, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye kubanga mugamanyi, era mumanyi nga tewali bulimba buva mu mazima.
22
Omulimba ye ani? Si ye oyo agamba nti Yesu si ye Kristo? Oyo eyeegaana Kitaffe ne Mwana, ye mulabe wa Kristo.
23
Buli eyeegaana Mwana, aba yeegaanye ne Kitaffe. Ayatula nti akkiriza Mwana, aba ne Kitaffe.
24
Mmwe kye mwawulira okuva olubereberye, kibeerenga mu mmwe. Ekyo kye mwawulira okuva olubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, olwo nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe.
25
Era Kristo yennyini kye yatusuubiza, bwe bulamu obutaggwaawo.
26
Ebyo mbibawandiikidde olw'abo abaagala okubakyamya.
27
Naye mmwe, Mwoyo Mutuukirivu, Kristo gwe yabagabira, ali mu mmwe. N'olwekyo temwetaaga muntu n'omu okubayigiriza kubanga Mwoyo we abayigiriza byonna era wa mazima, si wa bulimba. Kale mubeerenga mu Kristo, nga Mwoyo bwe yabayigiriza.
28
Kaakano baana bange, mubeerenga mu ye. Bw'alirabika, tulyoke tube bagumu, tuleme kukwatibwa nsonyi mu maaso ge lw'alijja.
29
Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, mumanye nga buli akola eby'obutuukirivu ye mwana we.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5