bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Thessalonians 1
1 Thessalonians 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo ne Siluvaano ne Timoteewo, tuwandiikira ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo abali mu Tessalonika, aba Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo. Katonda abakwatirwe ekisa mmwe era abawe emirembe.
2
Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna, era tetwosa kubasabira eri Katonda.
3
Bulijjo nga tuli mu maaso ga Katonda era Kitaffe, tujjukira nga bwe mulaga okukkiriza kwammwe n'okwagala kwammwe, mu ebyo bye mukola. Era tujjukira nga bwe mulaga essuubi lyammwe mu Mukama waffe Yesu Kristo.
4
Abooluganda, tumanyi nga Katonda abaagala, era yabalondamu mube ababe,
5
kubanga bwe twabategeeza Amawulire Amalungi, tegaali bigambo bugambo, wabula gaalimu amaanyi ne Mwoyo Mutuukirivu, era nga tukakasiza ddala nti bye tugamba bya mazima. Mumanyi bulungi nga bwe twayisanga nga tuli mu mmwe. Ekyo kyali bwe kityo, lwa kwagala kugasa bwammwe.
6
Nammwe mwagoberera empisa zaffe n'eza Mukama waffe, kubanga newaakubadde mwabonaabona olw'ekigambo kya Katonda, naye mwakikkiriza n'essanyu eriva mu Mwoyo Mutuukirivu.
7
Bwe mutyo ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna ab'omu Makedooniya n'ab'omu Akaya,
8
kubanga mwabunya ekigambo kya Katonda, si mu Akaya mwokka, naye wonna wonna baamanya bwe mukkiriza Katonda. Kyetuva tuteetaaga kubaako kye twogera,
9
kubanga abantu bennyini banyumya nga bwe twajja ewammwe, era nga bwe mwava ku bitali Katonda, ne mudda eri Katonda Nnannyinibulamu era ow'amazima, mumuweereze,
10
era mulindirire Omwana we okujja ng'ava mu ggulu, gwe yazuukiza, ye Yesu atuwonya obusungu bwa Katonda obugenda okujja.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5