bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Thessalonians 3
1 Thessalonians 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Kale bwe twalemwa okwongera okugumiikiriza, kyetwava tusalawo okusigala ffekka mu Ateene,
2
ne tutuma muganda waffe Timoteewo, gwe tukola naye omulimu gwa Katonda nga tutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo. Twamutuma abagumye, era abanyweze mu kukkiriza kwammwe,
3
waleme kubaawo n'omu aterebuka olw'okuyigganyizibwa.
4
Bwe twali tukyali nammwe twabategeerezaawo nti tuli ba kubonyaabonyezebwa, era mumanyi nti ekyo kituukiridde.
5
Nange bwe nalaba nga sikyayinza kugumiikiriza, kwe kubatumira Timoteewo. Namutuma, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe bwe kuli nga ntya nti sikulwa ng'omukemi abakema, okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere.
6
Kaakano Timoteewo ky'ajje akomewo gye tuli ng'ava ewammwe. Atuleetedde amawulire amalungi, agafa ku kukkiriza kwammwe n'okwagala kwammwe. Era atutegeezezza nti bulijjo mutulowoozaako nnyo, era nti mwegomba okutulabako nga naffe bwe twegomba okubalabako.
7
Kale baganda baffe, newaakubadde nga tuli mu buzibu bungi, ne mu kubonaabona, naye okukkiriza kwammwe kutuzzizzaamu amaanyi,
8
kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, tuba balamu ddala.
9
Kale Katonda tunaamuwa ki okumwebaza olw'essanyu lye tulina mu maaso ge ku lwammwe?
10
Emisana n'ekiro twegayirira nnyo Katonda, tusobole okulabaganako nammwe amaaso n'amaaso, era tulyoke tutuukirize ebikyabula ku kukkiriza kwammwe.
11
Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu, batusobozese okujja gye muli.
12
Mukama abongeremu okwagalananga n'okwagalanga abantu bonna, nga ffe bwe tubaagala mmwe.
13
Anyweze emitima gyammwe, Mukama waffe Yesu bw'alijja awamu n'abatukuvu be, mulyoke musangibwe nga temuliiko kya kunenyezebwa, nga muli batukuvu mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5