bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Thessalonians 5
1 Thessalonians 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
1
Baganda bange, tetwetaaga kubawandiikira bifa ku budde n'ebiseera, ebyo we biribeererawo.
2
Nammwe mwennyini mumanyidde ddala nti olunaku lwa Mukama lujja ng'omubbi bw'ajja ekiro.
3
Abantu bwe baliba nga bagamba nti: “Mirembe, tewali kabi”, olwo okuzikirizibwa ne kulyoka kubatuukako, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi alumwa okuzaala. Tebaliwona n'akatono.
4
Naye mmwe, baganda bange, temuli mu kizikiza nti olunaku olwo lulibagwikiriza ng'omubbi,
5
kubanga mwenna muli bantu ba kitangaala, era muli ba misana. Tetuli ba kiro, wadde ab'ekizikiza.
6
Kale tuleme kwebaka ng'abalala, naye tutunule, tuleme kuba batamiivu.
7
Abeebaka, beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro.
8
Kale nga bwe tuli ab'emisana, tuleme kuba batamiivu. Okukkiriza n'okwagalana bitubeerere engabo, n'okusuubira obulokozi kutubeerere enkuufiira,
9
kubanga Katonda teyatuteekerateekera kubonerezebwa busungu bwe, wabula yatuteekerateekera kulokolebwa Mukama waffe Yesu Kristo,
10
eyatufiirira, tulyoke tube balamu wamu naye, si nsonga oba tufudde oba tuli balamu.
11
Kale buli omu agumyenga munne, era amuyambenga, nga bwe mukola kati.
12
Abooluganda, tubeegayirira mumanye abo abakola omulimu mu mmwe, era Katonda b'alonze okubakulembera n'okubayigiriza.
13
Mubassengamu nnyo ekitiibwa, era mubaagalenga olw'omulimu gwabwe. Mubenga n'emirembe mu mmwe.
14
Abooluganda, tubeegayiridde mulabulenga abagayaavu, mugumyenga abatali banywevu, muyambenga abanafu, mugumiikirizenga bonna.
15
Mulabe nti mu mmwe tewaba awoolera ggwanga, wabula bulijjo munyiikirirenga okukola ebirungi mu mmwe, ne mu bantu bonna.
16
Musanyukenga bulijjo.
17
Musinzenga Katonda buli kiseera.
18
Mu byonna mwebazenga, kubanga ekyo mmwe ng'abantu ba Kristo, Katonda ky'ayagala mukole.
19
Temuziyizanga Mwoyo Mutuukirivu.
20
Temugayanga bya balanzi.
21
Mwekenneenyenga byonna, mugumirenga ku kirungi,
22
mwewalenga buli kibi.
23
Katonda yennyini atuwa emirembe, abatukuze. Era emyoyo gyammwe n'obulamu bwammwe n'emibiri gyammwe, bikuumibwe nga biri bulungi, Mukama waffe Yesu bw'alijja, mube nga temuliiko kye munenyezebwa.
24
Eyabayita mwesigwa, era ekyo alikituukiriza.
25
Baganda bange, mutusabire.
26
Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okw'abantu ba Katonda.
27
Mbalagira, mu linnya lya Mukama waffe, ebbaluwa eno esomerwe abooluganda bonna.
28
Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
All chapters:
1
2
3
4
5