bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Thessalonians 4
1 Thessalonians 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Abooluganda, mwatuyigirako nga bwe musaana okubeera, mulyoke musanyuse Katonda, era bwe mutyo bwe mubadde mukola. Kale kaakano eky'enkomerero, tubeegayirira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukole bwe mutyo n'okusingawo,
2
kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa ku bwa Mukama waffe Yesu nga bwe biri.
3
Katonda ky'abaagaza, kwe kuba abatukuvu, mwewale obwenzi.
4
Buli omu mu mmwe ateekwa okumanya okufuganga omubiri gwe mu butukuvu, n'okugussangamu ekitiibwa.
5
Temufugibwanga kwegomba kwa mubiri, ng'abantu ab'ensi abatamanyi Katonda bwe bakola.
6
Mu nsonga eno waleme kubaawo akola ebirumya munne, wadde okumutwalako ekikye, kubanga Mukama awoolera eggwanga oly'ebyo byonna. Ebyo byonna twabibalabulamu era twabibategeeza dda.
7
Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula yatuyitira butukuvu.
8
N'olwekyo buli anyooma ekyo, aba tanyoomye muntu, wabula aba anyoomye Katonda, abawa mmwe Mwoyo Mutuukirivu we.
9
Naye ebikwata ku kwagalana, abooluganda, seetaaga kubibawandiikira, kubanga mmwe mwennyini Katonda yabayigiriza okwagalana.
10
Era bwe mutyo bwe mukola mu booluganda bonna abali mu Makedooniya yonna. Kale baganda baffe, tubeegayirira mukolenga bwe mutyo n'okusingawo.
11
Munyiikirirenga okuba mu ddembe, mukolenga emirimu gyammwe, nga mukola n'emikono gyammwe nga bwe twabagamba.
12
Olwo abatakkiriza banaabassangamu ekitiibwa, era muneemaliriranga mu bye mwetaaga.
13
Abooluganda, twagala mumanye ebikwata ku abo abaafa, muleme kunakuwala ng'abantu abalala abatalina ssuubi.
14
Tukkiriza nti Yesu yafa n'azuukira, era bwe kiriba ne ku abo abaafa nga bakkiriza Yesu: Katonda alibakomyawo wamu ne Yesu.
15
Tubategeeza ekyo Mukama waffe kye yagamba nti Ye Mukama waffe bw'alijja, ffe abalamu tetulisooka abo abaafa.
16
Mukama waffe yennyini alikka ng'ava mu ggulu, ekirangiriro nga kirangirirwa, eddoboozi lya Ssaabamalayika nga liwulirwa, era n'ekkondeere lya Katonda nga livuga. Abo abaafa nga bakkiriza Kristo, be balisooka okuzuukira.
17
Awo naffe abaliba bakyali abalamu, ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire, okusisinkana Mukama waffe mu bbanga. Olwo ne tubeeranga ne Mukama waffe bulijjo.
18
Kale buli omu agumyenga munne n'ebigambo ebyo.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5