bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
1 Thessalonians 2
1 Thessalonians 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Abooluganda, mmwe mwennyini mumanyi nti okujja kwaffe gye muli, tekwafa bwereere.
2
Mumanyi nga bwe twabonaabona, era nga bwe twavumirwa e Filippi, nga tetunnajja gye muli e Tessalonika. Naye Katonda waffe yatugumya, ne tubategeeza mmwe Amawulire Amalungi agava gy'ali, newaakubadde bangi baatuziyizanga.
3
Bye tubakubiriza si bya bulimba oba eby'obugwagwa, wadde eby'obukuusa.
4
Naye nga Katonda bwe yatwesiga n'atukwasa Amawulire Amalungi, naffe bwe tutyo bwe tugabategeeza, nga tetugenderera kusanyusa bantu, wabula okusanyusa Katonda akebera emitima gyaffe.
5
Mumanyi bulungi nti tetukozesanga bigambo bya kubawaanawaana, wadde eby'okukweka omululu gwaffe. Katonda ye mujulirwa waffe.
6
Tetwegombanga kitiibwa, okukiweebwa mmwe oba abalala, newaakubadde nga twandisobodde okukibasaba mmwe, nga bwe tuli abatume ba Kristo.
7
Naye twegendereza mu mmwe, ng'omuzadde alabirira abaana be.
8
Twabalumirwa nnyo omwoyo, kyetwava twegomba okubatuusaako Amawulire Amalungi agava eri Katonda. Si ekyo kyokka, naye twegomba n'okuwaayo obulamu bwaffe bwennyini, kubanga twabaagala nnyo.
9
Abooluganda mujjukire nga bwe twabategeezanga Amawulire Amalungi agava eri Katonda, era nga bwe twafuba ne tutegana, nga tukola emisana n'ekiro, tuleme okuzitoowerera wadde omu ku mmwe.
10
Mmwe abakkiriza muyinza okutujulira, era ne Katonda atujulira nti empisa zaffe nga tuli mu mmwe zaali ntukuvu, ezituukiridde, era ezitaliiko kya kunenyezebwa.
11
Mumanyi nti buli omu ku mmwe twabanga naye nga kitaawe w'abaana bw'aba n'abaana be.
12
Twababuulirira, twabagumya, era twabakubiriza mube mu bulamu obusanyusa Katonda, eyabayita okuba mu Bwakabaka bwe ne mu kitiibwa kye.
13
Era kyetuva twebaza Katonda bulijjo, kubanga bwe mwawulira ekigambo kye, kye twabategeeza, mwakikkiriza, si nga eky'abantu, wabula mwakkiriza nti ddala kya Katonda. Era ekigambo kye, kye kikolera mu mmwe abakkiriza.
14
Abooluganda, mufaanana n'ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo Yesu ab'omu Buyudaaya, kubanga mwabonyaabonyezebwa bannansi bannammwe, nga bali bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya,
15
abatta Mukama waffe Yesu era n'abalanzi, ate naffe ne batuyigganya. Tebasanyusa Katonda, era balabe b'abantu bonna.
16
Baagezaako n'okutuziyiza okutegeeza ab'amawanga amalala eby'okubalokola, ekyo ne kyongera ku bibi byabwe bye bazze bakola okuva edda. Ku nkomerero Katonda n'abasunguwalira nnyo.
17
Abooluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono (ku maaso, sso si ku mutima), tweyongera nnyo okwegomba okubalabako,
18
ne twagala okujja gye muli. Nze Pawulo, nagezaako omulundi ogusooka n'ogwokubiri, kyokka Sitaani n'atuziyiza.
19
Kale Mukama waffe bw'alijja, si mmwe mulibeera essuubi lyaffe n'essanyu lyaffe mu maaso ge? Si mmwe tulisinziirako okwenyumiriza olw'obuwanguzi?
20
Mmwe kitiibwa kyaffe, era mmwe ssanyu lyaffe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5