bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ephesians 1
Ephesians 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
1
Nze Pawulo omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda bwe yayagala, mpandiikira abantu ba Katonda abali mu Efeso, era abeesigwa mu Kristo Yesu.
2
Katonda Kitaffe ne Mukama Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
3
Ka twebaze Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuweera mu Kristo buli mukisa oguva mu ggulu, ogugasa omwoyo.
4
Katonda, ng'ayita mu Kristo yali yamala dda okutulonda nga n'ensi tennatondebwa, tube batukuvu, era abataliiko kamogo mu maaso ge. Olw'okutwagala,
5
yatufuula baana be, ng'ayita mu Yesu Kristo, nga bwe yateesa mu kusiima kwe,
6
tulyoke tumutendereze olw'ekirabo kye ekyekitiibwa, kye yatuweera mu Mwana we omwagalwa.
7
Olw'okufa kwa Kristo, tununulibwa ne tusonyiyibwa ebibi byaffe olw'ekisa kya Katonda ekingi ennyo
8
kye yatukwatirwa. Katonda mu magezi ge ne mu kutegeera kwe,
9
yatumanyisa ekyama eky'okwagala kwe, kye yali yategeka edda okutuukiriza mu Kristo.
10
Entegeka ye gy'alituukiriza ng'ekiseera kyayo kituuse, kwe kugatta awamu mu Kristo ebintu byonna, ebiri mu ggulu n'ebiri mu nsi, Kristo abe omutwe gwabyo.
11
Mu Kristo mwe twalonderwa ne twawulibwa okuba abantu ba Katonda, kubanga eyo ye yali entegeka ya Katonda akola byonna nga bw'asiima,
12
ffe abaasooka okuba n'essuubi mu Kristo, tulyoke tutendereze ekitiibwa kya Katonda.
13
Era mu Kristo nammwe mwawulira ebigambo eby'amazima, ge Mawulire Amalungi ag'okulokolebwa kwammwe. Mwakkiriza Kristo, era ekiraga nti muli babe, Katonda yabassaako akabonero, ng'abawa Mwoyo Mutuukirivu gwe yasuubiza.
14
Mwoyo Mutuukirivu oyo ye atukakasa nti Katonda bw'alimala okununula abantu be, tulifuna ebyo Katonda bye yatusuubiza, tutendereze ekitiibwa kye.
15
N'olwekyo, okuva lwe nawulira nti mukkirizza Mukama Yesu, era nti mwagala abantu ba Katonda bonna,
16
sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira
17
ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe oweekitiibwa, abawe Mwoyo Mutuukirivu abageziwaze, era abamanyise Katonda, mumutegeere.
18
Nsaba, emyoyo gyammwe gyeyongere amagezi, mumanye ebyo Katonda bye yabasuubiza bwe mwayitibwa, era mumanye n'obugagga obungi, abantu be bwe bafuna.
19
Era nsaba mumanye amaanyi ge amasukkirivu, agakolera mu ffe. Amaanyi ago,
20
geego gennyini agaazuukiza Kristo, ne gamutuuza mu ggulu, ng'aliraanye Katonda ku ludda lwe olwa ddyo,
21
n'afuga abafuzi n'ab'obuyinza, n'ab'amaanyi, era n'abakungu bonna, si mu bulamu buno bwokka, naye ne mu obwo obugenda okujja.
22
Katonda yassa ebintu byonna mu buyinza bwa Kristo, n'amufuula omukulembeze ow'oku ntikko ow'ekibiina ky'abamukkiriza.
23
Ekibiina ekyo gwe mubiri gwa Kristo ogumufuula atuukiridde, ye yennyini atuukiriza byonna wonna.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6