bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ephesians 2
Ephesians 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
1
Nammwe mwali mufiiridde mu bujeemu ne mu bibi byammwe.
2
Mwagobereranga empisa embi ez'ensi, nga mufugibwa omwoyo gw'omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, ogwo kati ogufuga abo abajeemera Katonda.
3
Naffe ffenna twali bajeemu nga bo, nga tutwalibwa okwegomba kwaffe okubi okw'omubiri, era nga tukola ebyo omubiri n'amagezi gaffe bye byagala. Okufaanana ng'abantu abalala bonna, naffe twali tuteekwa buteekwa okubonerezebwa Katonda.
4
Kyokka Katonda ow'ekisa ekingi era atwagala ennyo,
5
bwe twali nga tufiiridde mu bujeemu bwaffe, yatuzuukiza wamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda.
6
Nga tuli mu Kristo Yesu, Katonda yatuzuukiza wamu naye, era n'atutuuza wamu ne Kristo oyo mu ggulu.
7
Yakola ekyo alyoke alage mu mirembe egigenda okujja, obulungi bwe n'ekisa kye ekingi ennyo, kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu,
8
kubanga bwe mwakkiriza, mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda. Okulokolebwa kwammwe tekwava ku mmwe, wabula kyali kirabo kya Katonda.
9
Tekwava mu bikolwa byammwe ebirungi, waleme kubaawo yeenyumiriza.
10
Katonda ye yatutonda ne tuba nga bwe tuli, twatonderwa mu Kristo Yesu, tukolenga ebikolwa ebirungi, Katonda bye yatuteekerateekera okukolanga.
11
Mmwe abaazaalibwa nga muli ba mawanga malala, Abayudaaya be bayita abatali bakomole (kubanga bo beeyita bakomole, abakomolebwa abantu) mujjukire bwe mwali mu biseera ebyayita.
12
Olwo temwalina Kristo. Mwali Bannamawanga, nga temubalirwa mu ggwanga lya Yisirayeli. Era temwalina mugabo mu ndagaano ezirimu ebyo Katonda bye yasuubiza. Mwali mu nsi nga temulina ssuubi, era nga temulina Katonda.
13
Naye kaakano, olw'okwegatta awamu ne Kristo Yesu, mmwe edda abaali batwesudde ewala, mwaleetebwa kumpi olw'okufa kwa Kristo.
14
Kristo ye yatuleetera emirembe ne tuba omuntu omu, bwe yawaayo omubiri gwe, n'amenyawo ekisenge eky'obulabe ekyatwawulanga.
15
Yadibya etteeka ly'Abayudaaya ne byonna bye lyalagiranga, alyoke afuule Abayudaaya n'ab'amawanga amalala eggwanga limu eriggya, eryegattidde mu ye yennyini, bw'atyo n'aleeta emirembe.
16
Yafiira ku musaalaba alyoke amalewo obulabe, era atukomyewo ffenna eri Katonda, nga tuli omuntu omu.
17
Mmwe abaali ewala, Kristo yajja n'abategeeza Amawulire Amalungi ag'emirembe, n'agategeeza n'abo abaali okumpi.
18
Ffenna tuyita mu ye, nga tuli mu Mwoyo omu, ne tusobola okutuuka mu maaso ga Kitaffe.
19
N'olwekyo temukyali Bannamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n'abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda.
20
Mwazimbibwa ku musingi, be batume n'abalanzi, nga Kristo lye jjinja ekkulu ery'entabiro.
21
Mu ye ekizimbe kyonna mwe kinywerera, ne kikula, ne kiba essinzizo ettukuvu erya Mukama.
22
Era mu ye, mmwe naffe Mwoyo atuzimba, ne tuba ekisulo kya Katonda.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6