bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ephesians 3
Ephesians 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
1
Olw'ensonga eyo, nze Pawulo omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga amalala, mbasabira eri Katonda.
2
Ndowooza mwawulira nga Katonda yankwasa omulimu ogw'okubategeeza mmwe ebifa ku kisa kye,
3
era nga yandaga ekyama kye, nga bwe nawandiika mu bimpimpi.
4
Bwe munaasoma bye nawandiika, munaamanya nga bwe ntegeera ekyama kya Kristo.
5
Mu mirembe egy'edda, abantu tebaategeezebwa kyama kino, naye kaakano Katonda akibikkulidde abatume be abatukuvu n'abalanzi, ng'ayita mu Mwoyo Mutuukirivu.
6
Ekyama kye kino nti olw'Amawulire Amalungi, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala balina ebisaanyizo bye bimu. Bonna bye bitundu eby'omubiri ogumu, era bagabanira wamu ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu Kristo Yesu.
7
Katonda olw'ekisa kye, yampa ekirabo, amaanyi ge ne gakola mu nze, n'anfuula omuweereza w'Amawulire Amalungi.
8
Nze asembayo mu bantu ba Katonda bonna, Katonda yampa omukisa guno okutegeeza ab'amawanga amalala Amawulire Amalungi ag'obugagga bwa Kristo obutaggwaawo.
9
Era yampa omukisa okumanyisa abantu bonna ebifa ku kyama kino, Katonda eyatonda byonna kye yali akisizza okuva edda n'edda lyonna.
10
Kaakano ng'ayita mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ayagala amanyise abafuzi n'ab'obuyinza abali mu ggulu, amagezi ge agatakoma.
11
Ekyo yakiteekateeka okuva edda n'edda lyonna, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe.
12
Olw'okwegatta awamu ne Kristo oyo, era n'olw'okumukkiriza, tuguma ne tusembera eri Katonda nga tetutya.
13
Kyenva mbeegayirira, muleme kuterebuka olw'okulaba nga mbonaabona ku lwammwe, kubanga okubonaabona kwange okwo, mmwe kubaweesa kitiibwa.
14
Kyenva nfukaamirira Katonda Kitaffe,
15
ebika byonna eby'omu ggulu n'eby'oku nsi mwe bisibuka,
16
ne mmusaba ye oweekitiibwa ekingi, abajjuze mmwe amaanyi aga Mwoyo we,
17
Kristo alyoke abeere mu mitima gyammwe, olw'okukkiriza kwe mulina. Mubeerere ddala mu kwagala, era mukunywereremu,
18
mmwe awamu n'abantu ba Katonda bonna, musobole okutegeerera ddala obugazi, n'obuwanvu, n'obugulumivu, n'okukka wansi eby'okwagala kwa Kristo.
19
Nsaba mumanye okwagala kwa Kristo okusukkiridde okutegeera kwonna, mulyoke mujjulire ddala Katonda.
20
Katonda oyo ayinza okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza, olw'amaanyi ge agakolera mu ffe,
21
aweebwe ekitiibwa mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, ne mu Kristo Yesu, kaakano ne mu mirembe egitaggwaawo. Amiina.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6