bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ephesians 4
Ephesians 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
1
Nze eyasibibwa olwa Mukama, kyenva mbeegayirira mmwe, mube n'empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa.
2
Mube bakkakkamu, bawombeefu era bagumiikiriza. Mulage okwagalana kwammwe, nga buli omu agumiikiriza munne.
3
Mwoyo Mutuukirivu yabafuula omu. Mufube okunywerera mu mirembe egibagatta awamu.
4
Omubiri guli gumu, ne Mwoyo omu, ng'ekyo kye mwayitirwa era kye musuubira bwe kiri ekimu.
5
Mukama ali omu, n'okukkiriza kumu, n'okubatizibwa kumu,
6
Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna, era abeera mu byonna.
7
Kyokka buli omu mu ffe yaweebwa ekirabo ekyenjawulo, nga Kristo bwe yamugerera.
8
Ekyawandiikibwa kyekiva kigamba nti: “Bwe yalinnya mu ggulu, yatwala abasibe, n'awa abantu ebirabo.”
9
Okugamba nti yalinnya, kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w'ensi.
10
Oyo eyakka, ye wuuyo eyalinnya ewala ennyo, n'ayisa eggulu lyonna, alyoke ajjuze byonna.
11
Era ye omu oyo eyawa abamu okuba abatume, abalala okuba abalanzi, abalala okutegeeza abantu Amawulire Amalungi, abalala okuba abasumba b'emyoyo, n'abalala okuba abayigiriza.
12
Ekyo yakikola olw'okutendeka abantu ba Katonda mu mulimu gw'okuweereza, era n'okuzimba omubiri gwa Kristo,
13
okutuusa ffenna lwe tulibeera n'okukkiriza okumu, n'okumanya Omwana wa Katonda, tube bakulu mu by'omwoyo, abatuukiridde mu bulamu bwa Kristo.
14
Olwo nga tetukyali baana bato, abazzibwa eno n'eri, abatwalibwa mu muyaga gw'enjigiriza y'abantu abakuusa, abakyamya abalala olw'enkwe ze basala.
15
Naye tube ba mazima era abaagalana, tulyoke tukule mu byonna okutuuka ku kwegattira ddala ne Kristo, omutwe gwaffe.
16
Kristo oyo ye aleetera omubiri gwonna okwegatta awamu, ennyingo ezigulimu zonna ne zinywezebwa, buli kitundu ne kikola omulimu gwakyo. Olwo omubiri ne gukula, ne guzimbibwa mu kwagalana.
17
Kale kye ŋŋamba, era kye ntegeeza mu linnya lya Mukama kye kino, nti mulekere awo okuyisa ng'abantu ab'ensi bwe bayisa, nga bagoberera ebirowoozo byabwe ebitaliimu.
18
Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by'obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya, era emitima gyabwe mikakanyavu.
19
Tebakyalina nsonyi. Beemalidde mu bya buwemu, era balina omululu ogw'okukola eby'obugwenyufu ebya buli ngeri.
20
Kyokka mmwe, Kristo temwamuyiga bwe mutyo.
21
Ddala mwawulirako, era mmwe ng'ababe, mwayigirizibwa amazima agali mu Yesu.
22
Kale muleme kuba bantu ab'embeera ey'edda gye mwalimu, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba.
23
Mufuuke baggya mu mwoyo ne mu birowoozo byammwe.
24
Mube bantu baggya, abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu bwesimbu ne mu butukuvu obw'amazima.
25
N'olwekyo, muleke obulimba. Buli muntu ategeezenga munne amazima, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.
26
Bwe wabaawo ekibasunguwaza, mwekuume kireme kubakozesa kibi. Temuzibyanga budde nga mukyasibye obusungu,
27
era temwereeterezanga Sitaani.
28
Abadde abba, alekere awo okubba, wabula anyiikire okukola emirimu, ng'akozesa emikono gye, alyoke abe ne ky'awa abo abeetaaga.
29
Akamwa kammwe kalemenga okwogera ekigambo ekibi ekitasaana, wabula koogerenga ebyo byokka ebirungi ebizimba era ebisaana, biryoke bigase abo ababiwulira.
30
Era temunakuwazanga Mwoyo Mutuukirivu wa Katonda, kubanga Mwoyo ke kabonero kwe mulimanyirwa ku lunaku olw'okununulibwa.
31
Okunyiiga, okusunguwala, okukaayana, okuvuma, na buli bubi bwonna, bibavengamu.
32
Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mmwe mu Kristo.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6